TOP

Okusula mu nnyumba omutali pulasita kumenya

Added 31st October 2019

ONNY Mukisa ow’e Garuga olwamala okuggala ennyumba ye n’ayingira nga tannaba kukuba pulasita. Yali akooye landiroodi okumukonkona buli lunaku n’okumulangira obwavu. Wadde yali asula bubi kyokka nga musanyufu ku mutima olw’okusula mu nnyumba gye yeezimbidde ng’awonye n’obunkenke bw’okunoonya ssente za landiroodi eza buli mwezi.

 Abavubuka nga bakuba ennyumba pulasita

Abavubuka nga bakuba ennyumba pulasita

Bya PONSIANO NSIMBI
 
 
TONNY Mukisa ow'e Garuga olwamala okuggala ennyumba ye n'ayingira nga tannaba kukuba pulasita. Yali akooye landiroodi okumukonkona buli lunaku n'okumulangira obwavu. Wadde yali asula bubi kyokka nga musanyufu ku mutima olw'okusula mu nnyumba gye yeezimbidde ng'awonye n'obunkenke bw'okunoonya ssente za landiroodi eza buli mwezi.
 
Agamba nti mu mwaka gumu yali amaze okukung'aanya ssente z'okukuba pulasita kyokka ebbanga lye yamala ng'asula mu nnyumba etaliimu pulasita, agigeraageranya ku ffumbiro omutaggwa mukka.
 
Mukisa agamba nti buli kiseera ennyumba ebeera erumira. Olaba n'amasuuka ogenda okugayingira nga galimu ettaka era kumpi buli luvannyuma lwa ssaawa bbiri olina okuzuukuka n'ogakunkumulako ettaka. Ye bw'oba olina bbebi, ayinza okulya ettaka n'olowooza nti alya keeki n'ekiddako kulwala. 
 
Mukisa bwalojja ennaku gye yayitamu olw'okusula mu nnyumba omutali pulasita. Jjukira okuzimba ennyumba kye kirooto kya buli muntu naddala ali mu bupangisa kyokka okuzimba ennyumba kubeera nga mwana akula anti buli mutendera gubeerako ebigobererwa. 
 
Kati bw'ositula ennyumba n'ogikomerera n'ogiggala ekiba kiddako kuba kukuba pulasita. Kyokka kino tekikugaana kuyingira nnyumba yo ne weebaka bw'oba ozitoowereddwa.
 
EBIKA BYA PULASITA
lWaliwo pulasita omuwewevu akubwa mu nnyumba munda.
lPulasita  akalabula oba ow'ekipande akubwa wabweru w'ennyumba kyokka  ng'omuntu waddembe okukozesa omuwewevu munda n'ebweru.
 
Ebirala bisange mu Bukedde w'olwomukaaga ku muko gw'Akeezimbira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...