TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okunnyikiza obuntubulamu kyakutaasa obutonde bw'ensi-Kabaka

Okunnyikiza obuntubulamu kyakutaasa obutonde bw'ensi-Kabaka

Added 31st October 2019

Okunnyikiza obuntubulamu kyakutaasa obutonde bw'ensi-Kabaka

 Maama Nnabagereka ng'ayogera mu lukung'aana

Maama Nnabagereka ng'ayogera mu lukung'aana

KABAKA Mutebi II awadde amagezi abakulembeze ku lukalu lwa Afrika okunnyikiza obuntubulamu ng'emu ku nkola ezigenda okutaasa n'okukuuma obutonde bwensi obwonoonese ennyo ensangi zino.

Bino byabadde mu bubaka bwe bweyatisse Maama Nnabagereka Sylivia Nagginda eri olukung'aana ku butonde bwensi mu nsi yonna (Global Landscapes Forum) nga lwa badde mu kibuga Accra eky'ensi Ghana okuva ku Lwokubiri October 29-30,2019 naagamba nti ebbula ly'omwoyo gwa bulungibwansi lyongedde okutatana obutonde.

"Tulaba okwonooneka kw'obutonde bwensi n'enkyukakyuka y'obudde ng'akabonero akalaga obubulwa bw'obuntubulamu mu bantu," Obubaka bwa Kabaka bwebwasomye mu lukung'aana luno olwategekedde aba United Nations Development Programme (UNDP).

Yanyonyodde nti Obuntubulamu busimbye mu nnono z'Abafirika (Ubuntu nga bwekyogerwa e South Africa) nga mulimu obuvunanyizibwa,okufaayo,okweyisa obulungi,okussa ekitiibwa mu bantu,okulumirirwa abalala,n'obwesimbu.

Kabaka era yayongedde n'ategeeza olukung'aana luno olw'etabiddwamu abakugu ku nkozesa y'ettaka,obutonde bwensi n'okukubaganya ebirowoozo ku ndagaano y'e Paris- Bufalansa ekwata ku mbeera y'obudde nti enkola y'obuntubulamu emaze emyaka n'ebisiibo mu Buganda,esobola okweyambisibwa okukuuma embeera y'ensi eno gyetulimu nga nnungi.

EKY'OKULABIRAKO KY'EMIZIRO MU KUKUUMA OBUTONDE:

Kabaka yagambye nti mu Africa,ennono n'obuwangwa bikola kinene mu kukuuma obutonde bwensi naawa eky'okulabirako ky'ebika bya Buganda 54 ebikozesebwa mu nsonga eno.

" Buli kika kirina omuziro nga bino birabibwa mu bisolo,ebiwuka oba ebimera era nga kizira okulya okulya ekika oba omuziro gwo. Kino kiteeka obuvunanyizibwa ku buli muntu okukuuma n'okulwanirira okubeerawo kw'ekika kye,"Kabaka bweyagambye mu bubaka bwe.

KABAKA YASIIMYE OBUKULEMBEZE BW'EKIBIINA KY'AMAWANGA AMAGATTE:

Kabaka yasiimye ekibiina ky'amawanga amagatte (United Nations) wansi w'obukulembeze bwa Ssabawandiisi waakyo, Antonio Guterres olw'okubangawo enkola ng'ali ne bannamikago okunogera ekizibu ky'enkyukakyuka y'obudde,eddagala kuba kino kyabulabe eri omuntu n'obutonde.

Ebigendererwa mukaaga ku 17 eby'okutumbula enkulakulana mu nsi yonna,birafubana ku kulaba ng'ensi n'obutonde bikuumibwa kuba okwonooneka kw'embeera y'ensi kukosa abantu obuwumbi 3.2 mu nsi yonna kwaabo obuwumbi omusanvu abagirimu n'okutwala ebitundu by'ensimbi z'ensi yonna 10 ku buli 100 okugonjoola ebizibu bino.

Ku lwokuna Nnabagereka n'ekibinja kyeyagenda nakyo omwaali Minisita wa Bulungibwansi e Mmengo Hajjat Mariam Mayanja,lwebasimbudde okukomawo e Uganda nga mu lukungana luno Kabaka yayitibwa ng'omugenyi omukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...