TOP

Bbugwe w'olubiri e Mengo asuliridde kugwa

Added 1st November 2019

Ebyokwerinda bya Kabaka biri mu matigga!

 Ekikomera ky'olubiri kiyuuguuma.

Ekikomera ky'olubiri kiyuuguuma.

Bya Lillian Nalubega

Ekikomera oba bbugwe eyebulungudde olubiri ali mu mbeera mbi. Ekikomera kino kyazimbibwa mu 1956 ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa era kye yabuuka mu 1966 bwe yali alumbiddwa mu lubiri lwe luno.

Nga Ssekabaka Muteesa azzeemu okuwangangusibwa abaali mu buyinza baasalawo okuzimba ekisaawe ky'ennyonyi munda mu Lubiri nga kino kye kyavaako entuumu z'ettaka eziri ku luuyi lwa Ndeeba era nga zeezaasinga okunafuya ekisenge kino ne kitandika okugwa n'ebitundu ebimu ne bibuliramu ng'oyinza okulowooza nti byazimbibwa bimpi

 

 

 

 Olubiri luno lwa nkizo nnyo kubanga g'emaka amatongole ag'Obwakabaka mu Buganda era kya bulambuzi kikulu mu ggwanga.

 

 

 miti egyabizza bbugwe wolubiri Emiti egyabizza bbugwe w'olubiri.

 

 miti egyakula ku bbugwe wolubiri Emiti egyakula ku bbugwe w'olubiri.

 

 katundu kolubiri akaagwa nga kaddaabirizibwa Akatundu k'olubiri akaagwa nga kaddaabirizibwa.

 

Enkuba efudemba ensangi zino n'obutafiibwako binafuyizza nnyo bbugwe ono era ng'abantu abaliraanyewo n'abo abakozesa oluguudo lwa Lubiri Ring Road obulamu bwabwe buli mu matigga kubanga essaawa yonna kigwa oboolyawo ne kikosa abalibaawo.

Ebitundu bingi ku bbugwe ono kwamerako emiti ate emirala gikiri kumpi nnyo nga kitegeeza nti emirandira gyagyo gikinafuya.

 

 

 

 

Emiti egiriraanye bbugwe giyuuguumya ekisenge kino.

Ebitundu ebirala ebya bbugwe ono enkuba egenze ebimegula nga tebiddabirizibwa ekibireetedde okuba ebimpi ddala nga n'omwana omuto aba alengera ekifa e,buga. Kino nno kya bulabe kubanga kyangu abakozi b'ebikolobero okuva mu bitundu bya "Gheto" ebiriraanyewo okukozesa omukisa okwekwekayo ekiteeka ebyokwerinda bya Kabaka mu matigga.

Waliwo abantu abeetoolodde olubiri abalulimirako ebintu ebyenjawulo ng'ebimuli, kasooli, ebijanjalo, muwogo ne Lumonde. Bano nabo baleetedde omusingi gw'ekikomera kino okunafuwa.

 

 

 u ggeeti eyingira essomero lya ubiri igh chool Ku ggeeti eyingira essomero lya Lubiri High School.

 

e baddaabiriza we weeyongera okubomokaWe baddaabiriza we weeyongera okubomoka.

 

 njatika mu kitundu ekyaddaabirizibwa Enjatika mu kitundu ekyaddaabirizibwa.

 

 

Enjatika zijjudde mu bbugwe ono era nga yadde obutundu bungi ku kikomera kino bugenze buddaabirizibwa naye omulimu gukoleddwa mu ngeri ya gadibe ngalye era nga wayitawo akaseera katono n'awaddaabiriziddwa ne waayatika.

 

 

 

 balimira ku kisenge kyolubiri nabo bakyongedde okutendewalirwa Abalimira ku kisenge ky'olubiri nabo bakyongedde okutendewalirwa.

 

 

Mu kiro ekikeesa Olwomukaaga lwa wiiki ewedde ekikomera kino kyagwa olw'enkuba eyafudemba wabula nga yasanga kyanafuwa ddwa era nayo yalya mungu buteesokoola.

 

 

 

Omwogezi w'obwakabaka, Noah Kiyimba bwe yabuuziddwa ku nteekateeka gye balina ku bbugwe w'olubiri anafuye yategeezezza ng'abalaata nti ensonga za bbuggwe tekuli kipya. 

 

 e baddaabiriza we wagwa We baddaabiriza we wagwa.

 

 Ebifaananyi bya Patrick Kibirango ne Lillian Nalubega. 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...