TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi, Eddy Kenzo tetwamuyise'

'Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi, Eddy Kenzo tetwamuyise'

Added 2nd November 2019

'Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi, Eddy Kenzo tetwamuyise'

 Kenzo ate ku ddyo ye Rema ng’aloola ne Ssebunya mu kukyala.

Kenzo ate ku ddyo ye Rema ng’aloola ne Ssebunya mu kukyala.

ABATEGESI b'okwanjula kwa Rema Namakula ne Hamza Ssebunya bategeezezza nti Eddy Kenzo tali ku bagenyi be baayise ku mukolo.

"Abagenyi abayite bonna baafuna dda kkaadi.

Olukalala lw'abagenyi twalumaliriza. Tetukyasobola kwongerako balala", Issa Musoke, akulira akakiiko akategesi bwe yategeezezza Bukedde eggulo.

Okutangaaza kuno kuddiridde Eddy Kenzo okutuuza olukiiko lwa bannamawulire ku Lwokuna n'ategeeza nti yandyagadde okubeerawo ku kwanjula kwa Rema Namakula era ajja kuwaayo ensimbi okuyambako mu nteekateeka.

"Nja kwambala ekkanzu yange, mbeerewo ku mukolo gwa Rema bwe banaaba bampise", Kenzo bwe yagambye.

Kyokka Issa yagambye nti tewakyaliwo mukisa kuyita Kenzo ate n'ensimbi ze tezijja kwetaagisa kubanga omukolo gwa Rema gwa njawulo ku mikolo emirala teguliiko kusonda ssente wadde okutegeka enkiiko.

Rema ajja kwanjula Dr. Hamza Ssebunya nga November 14 e Nabbingo ku lw'e Masaka.

Kenzo era yategeezezza nti ali mu bulumi bw'obutalaba mwana we Amaal Musuuza mu kiseera kino ali ne nnyina Rema mu maka ga Ssebunya. "Amaal mwana wange. Nnina okubeera naye nga kitaawe, kyokka tekisoboka.

Nkola ekisoboka okubeera n'omusaayi gwange kyokka sirina bwe ndaba Amaal", bwe yagambye.

Maneja wa Rema, Geofrey Kayemba yayanukudde Kenzo ku nsonga eyo n'agamba: Tewali awakanya kya kuba nga Amaal mwana wa Kenzo ne Rema.

Kenzo bw'aba ayagala kulaba mwana we amanyi amakubo g'ateekwa okuyitamu. "Kenzo yaakakomawo mu Uganda.

Ennaku entono ze yaakamala z'asinziirako okulaajana olw'omwana? Omwana we ajja kumulaba era tewannabaawo amumugaana", bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...