TOP

Owa UPDF akubye owa Umeme essasi

Added 2nd November 2019

OMUSERIKALE wa UPDF, Capt. Mesearch Baguma akubye omukozi wa UMEME essasi mu kugulu ng’amulanga kulinnya muti gwa masannyalaze nga tasoose kumulaga bimwogerako.

 Mugwanya ng’omusawo amujjanjaba.

Mugwanya ng’omusawo amujjanjaba.

Baguma akolera mu nkambi y'amagye e Mbarara yavudde mu mbeera oluvannyuma lw'okusanga Edward Mugwanya, 27, ng'awalampye omuti gwamasannyalaze ng'agazaako.

Yamusabye amulage ebimwogerako, kyokka Mugwanya n'alowooza nti byakusaaga era yalabidde awo nga Baguma yeesogga ennyumba n'aggyayo emmundu n'amukuba essasi eryamukutte mu kugulu.

Byabadde Katooke Zzooni A mu munisipaali y'e Nansana mu disitulikiti y'e Wakiso ku Lwokuna akawungeezi ku ssaawa 12:30. Mugwanya mutuuze w'e Kawempe Jinja - Kaloli ng'alina tenda n'ekitongole kya Unique Technical Services e Nsangi - Nateete nga yabadde ayitiddwa Becky Nsereko naye asika amasanyalaze okuva ku muti gwe ggumu.

Nsereko yagambye nti yeewuunyizza ekyaggye Baguma mu mbeera kuba oluvannyuma yayagadde n'okukuba abantu abazze okudduukirira nga bawulidde essasi erivuga.

Jean Natukunda naye eyabaddewo yagambye nti Baguma yalowoozezza nti eyabadde ku muti yabadde kamyufu ng'azze kuggyako masannyalaze bamuwe ssente agabatereereze.

Ekyamutabudde bwe yabuuzizza Mugwanya ebimwogerako n'amuddamu nti; " ebyokuntiisatiisa tebikola nze bampise kutereeza masannyalaze era tolina ky'oyinza kunkola n'akamundu ko".

Baguma kye yakoze yamulinze n'amala okukka olwo n'amugamba nti nnyinza okukuba essasi. Era wadde yawanise emikono ng'alaba omujaasi atabuse, naye tekyamutaasizza kumukuba.

Kazibwe Bahir Mugwanya ng'omusawo amujjanjaba.

POLIISI EYOGEDDE

Luke Oweyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yagambye nti emmundu eyakozeseddwa mu butemu buno kika kya AK 47.

Baguma yakwatiddwa n'emmundu gye yakozesezza era akuumirwa ku poliisi y'e Kawempe. Baaguddewo omusango ku fayiro nnamba SD:REF:26/30/10/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu