TOP

KUSASIRA: Amaanyi g'afunye gamutadde mu buzibu!

Added 3rd November 2019

AMAANYI Catherine Kusasira g’afunye ewa Pulezidenti Museveni gamutadde mu buzibu olw’abantu abanyiivu ku njuyi zombi.

 Omu ku baserikale abakuuma Kusasira.

Omu ku baserikale abakuuma Kusasira.

Mu kutya okwo, Kusasira yaddukidde ku poliisi okumuwa obukuumi era kigambibwa nti yaweereddwa abakuumi musanvu. Abakuumi abasatu be bamutambulirako nga kuno kuliko n'amuggulirawo emmotoka, ate abakuumi abalala 4 bakuuma waka.

Mu mwaka gumu, Kusasira alina abantu bangi baayiseeko abagambibwa nti be baali "balya mu kintu" era abamu ssi basanyufu. Bamulumiriza nti teyakomye ku kufuna maanyi naye buli lw'abeera n'omukisa okusalawo abatuuka ku Pulezidenti, taganya bantu kutuukirira mukulu.

Kino nti kyeyolekedde nnyo ku mukolo Kusasira gwe yategese ne banne e Makindye ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, Pulezidenti we yasisinkanidde aba Ghetto; Kusasira nti yalemesezza aba NRM bannansangwa okutuuka ku Pulezidenti ne bava ku mukolo nga bayomba.

Ku makya g'Olwomukaaga, waliwo abavubuka e Kyebando abaakedde okwegugunga ne beekalakaasa nga bawakanya eky'okuwa abantu nga Kusasira ne Bucherman amaanyi mu NRM ate nga waliwo abaludde nga bawagira ekibiina nga tebafunamu bulungi.

Okuva omwaka oguwedde Kusasira azze agugulana n'aba NRM abamu era mu August 2018, yattunkako ne Minisita omubeezi ow'ebyettaka Persis Namuganza. Mu bintu Kusasira bye yafunye kwe kuli n'emmotoka Land Cruiser V8 gy'atambuliramu kati.

Ng'oggyeeko abali munda mu NRM abatali basanyufu ku ky'okuwa Kusasira amaanyi amangi, Kusasira era alina n'okutya okulala okw'abooludda oluvuganya gavumenti b'alumiriza okumulaalika okumutuusaako obuzibu.

Kusasira yagambye nti: Amazima gali nti kitutte akaseera ng'abantu be simannyi bankubira amasimu nga bantiisatiisa nti singa siva ku kukolera Pulezidenti Museveni ne NRM kampeyini, bajja kusaanyaawo obulamu bwange.

 useveni ne usasira Museveni ne Kusasira

 

Yagambye nti oluvannyuma lw'okubeera mu kutya okwo, yaddukidde ku poliisi n'emuwa obukuumi obumala, kyokka teyalambuludde bisingako awo.

Omu ku boofiisa ba poliisi ataayagadde kwatuukirizibwa yategeezezza Bukedde nti Kusasira yatuukiridde Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi era ye yawadde ekiragiro ky'okumuwa obukuumi nti era baamuwadde abaserikale 7 okuli abasatu abamutambulirako n'abana abakuuma awaka.

Yagasseeko nti okutya kwa Kusasira kuli ku njuyi bbiri okuli abali munda mu gavumenti wamu n'abali ku ludda oluvuganya.

Musa Kavuma Maneja wa Golden Band yagambye nti Kusasira yamutegeeza ku kutiisibwa okwo era ne bamuwa amagezi aloope ku poliisi.

Polly Namaye omumyuka w'omwogezi wa poliisi yagambye nti buvunaanyizibwa bwa poliisi okuwa omuntu yenna obukuumi singa abeera abwetaaga.

Kigambibwa nti bambega ba poliisi baakola okunoonyereza ku bantu abaali bakubira Kusasira amasimu agamutiisatiisa era ne kizuulwa nti baali baakayimbulwa okuva e Luzira era nga bateeberezebwa okuba nga bakyali mu bumenyi bw'amateeka obw'amaanyi.

Bambega era nti baagoba obuufu ne bazuula nti amakanda gaabwe gali mu bitundu by'e Busoga era omuyiggo gukyagenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...