TOP

Abasomesa bayunivasite 1,000 basuddewo emirimu

Added 3rd November 2019

Abasomesa ba yunivasite mu Uganda abasoba mu 1,000 be bavudde mu busomesa omwaka oguwedde ng’entabwe eva ku nsasula mbi.

Okusinziira ku kunoonyereza mu myaka kkumi egiyise omuwendo gw'abasomesa ku yunivasite gweyongedde okuva ku 5,249 mu 2004 ne gudda ku 12,638 mu 2017 kyokka omuwendo gugenda gukendeera  buli lukya.

Okunoonyereza okwakoleddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku bisomesebwa mu matendekero aga waggulu  abasomesa ba yunivasite abasinze okudduka ku mirimu be bo abalina diguli ey'okubiri (masters).

Ku basomesa 6,515 abaali ku mirimu mu 2016 ,5,520 be bakyasomesa             Kyokka waliwo abantu abalala abataasooma busomesa abalina diguli eziri ku ddaala lya Phd abeegasse ku mulimu guno.

Eky'omuwendo gw'abasomesa ba yunivasite abadduka ku mirimu okuba waggulu kireseewo okutya  nti mu myaka kkumi wayinza okubaawo obuzibu.

Minisita w'eggwanga avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu Dr. J.C Muyingo  ekimu ku biddusa abasomesa ku mirimu nsasula mbi.

Omumyuka wa cansala wa yunivasite e Gulu Polof. George Openjuru, naye agamba nti ensasula embi y'evuddeko obuzibu kuba obusomesa busasula kitono bw'ogerageranya n'emirimu emirala.

Agamba nti abasomesa bava ku mirimu okugenda okunoonya emirala emisava.

Dr. Emeka Akaezuwa owa International University of East Africa, agamba nti omutindo gw'ebisomesebwa okuba waggulu kyetaaga bissibwemu ssente.

Yunivasite ezisinga ssente eziziyimirizaawo ziva mu ffiizi.

Omumyuka wa cansala wa Team yunivasite Lutalo Bbosa  naye agamba nti ensasula etematiza yeddusa abasomesa mu yunivasite.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...