TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alabudde ab'e South Sudan bakomye okulwana

Museveni alabudde ab'e South Sudan bakomye okulwana

Added 3rd November 2019

PULEZIDENTI Museveni awabudde abakayanira obuyinza e South Sudan bategeke okulonda abantu beesalirewo gwe baagala okubakulembera mu kifo ky’okubeera mu ntalo ezitakoma.

Uganda erimu abanoonyi b'obubudamu abasoba mu kakadde kamu kyokka ng'abasinga bava South Sudan.

 Kyokka Pulezident Museveni bwe yabadde asisinkanye ekibinja ky'abantu mukaaga okuva e South Sudan ekyamuletedde obubaka obw'enjawulo okuva ew Pulezidenti Salva Kiir , yawabudde ab'eggwanga okukomya okulwana ensonga zizibwe mu kalulu.

‘'Tulina kukubaganya birowoozo ku ngeri ya kutegeka kulonda sso ssi kulwanira buyinza buli kiseera'' bwe yagambye. South Sudan yekutula ku Sudan oluvannyuma lw'olutalo olwamala ebbanga ng'abeekutula bagamba baali basosolwa Abawarabu.

 Wabula obuyinza bwe babukwasa bo bennyini ne batandika okulwanagana  naddala wakati wa Salva Kiir ne Riak Machar eyali amumyuka.

Ekibinja ky'ab'e South Sudan kyakulembeddwa Makuei Lueth era ensisinkano yabadde mu maka g'obwa Pulezidenti e Nakasero nga yetabiddwamu minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'amawanga ag'omulirwano Philemon Mateke  n'omuwabuzi wa Uganda ku by'okuzza emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Diego Maradona

Diego Maradona eyaliko kafu...

Ensi yonna eri mu kukungubaga lw'okufa kw'eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna Diego Maradona afudde....

Akakiiko k'eddembe ly'obunt...

AKAKIIKO k’eddembe ly’obuntu kavumiridde ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo...

Abamu ku bazannyi ba komedi.

Kapere bamugobye mu kibiina...

TAATA Sam yeegasse ku Ssenga Ssebanga ne bagoba Kapere nga bamulanga kwagala kutabula kibiina kyabwe. Mu kaweefube...

Abaserikale nga bakwata Bobi Wine lwe yeewandiisa okuvuganya ku bwapulezidenti.

Poliisi eremesezza Bobi Win...

POLIISI e Kibaale eremesezza Bobi Wine okukuba olukung'aana mu kifo kye yategese ne bamutegeeza nti takkirizibwa...

Sheikh Muzaata ali mu ddwaaliro.

Mutabani wa Muzaata atabuki...

MUTABANI wa Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddeyo ku bulwadde obuluma kitaawe. Atabukidde abasaasaanya amawulire ag'obulimba...