TOP

Ssentebe yeeyamye ku masomero ag'obwannannyini

Added 4th November 2019

Muyambe bamulekwa nga bwe mukuza ebitone byabwe

 Ku kkono  ye, mukulu  w'essomero Sarah Nakabugo, mu nkoofiira emmyuufu ye Hajji Kitaka Kavulu ne  Ssentebbe w'e Gombolola y'e Kyampisi  Muhammed Kabambwe eyabadde omugenyi omukulu

Ku kkono ye, mukulu w'essomero Sarah Nakabugo, mu nkoofiira emmyuufu ye Hajji Kitaka Kavulu ne Ssentebbe w'e Gombolola y'e Kyampisi Muhammed Kabambwe eyabadde omugenyi omukulu

Bya Madinah Sebyala 
Ssentebe w'e Gombolola y'e Kyampisi mu Disitulikiti y'e Mukono. Muhammad Kabambwe asuubizza okuyambako amasomero ag'obwannannyini naddala ago agavuddeyo okuyamba ku bamulekwa okusomera obwereere.
Yasiimye bannannyini masomero ag'obwannannyini okuvaayo ne gayamba ku Gavumenti okusitula n'okutumbula ebyenjigiriza naddala ago agayambye okusomesa bamulekwa   era naye ne yeeyama okubayambako okuggusa olubimbi lwe batandiseeko nga babawa ebikozesebwa mu kusoma okuli n'ebisale by'amasomero kye yagambye nti, kijja kutumbula embeera z'abantu.
Yabadde ku ssomero lya First Grade Junior School Kabembe mu  Gombolola y'e Kyampisi mu Disitulikiti y'e Mukono ku  Lwomukaaga bwe yabadde omugenyi omukulu ku lunaku  abayizi kwe baayolesezza ebitone baabwe n'okusiibula abayizi abaamazeeko nassale nga bagenda mu kibiina ekisooka.
Yayambye nti, agenda kukozesa ekifo kye nga Ssentebbe ng'ali wamu ne bakansala ku lukiiko lw'eggombolola bongere ku mutemwa  gwe bawa bamulekwa mu masomero ag'obwannannyini gye basomera nga omu ku kaweefube w'okutumbula ebyenjigiriza era n'akunga abantu okumweyambisa okufuna ebifo mu matendekero ga Gavumenti yonna gye gali kisobozese okutumbula embeera z'abantu.
Yasiimye abaatandika essomero lino, erya First Grade Junior School, Kabembe okuli Hajji Kitaka Kavulu Ssaalongo ne munne Ezekiel Isanga olw'okuyambako okusomesa bamulekwa ku bwereere era ne yeeyama okubafunira ku bikozesebwa mu ssomero ebiyamba okusitula  omutindo gw'ebyenjigiriza.
Hajji Kitaka, yasabye ssentebbe okubakendeereza ku musolo gwe bababinika omuli omusolo gw'ebizimbe gwe bagamba nti, mungi kyokka nga bayambako Gavumenti okusomesa abaana baayo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...