TOP

Mukomye okufuula abaana bakama bammwe

Added 4th November 2019

Fr. Ben Wakabi alaze ebiyisa oba okusuula omuyizi ebibuuzo ebyakamalirizo

 Fr. Ben Wakabi ng'asabira abayizi

Fr. Ben Wakabi ng'asabira abayizi

Bya Madinah Sebyala 
Faaza alaze ba siniya eyoomukaaga bye bateekeddwa okukola okwetegekeraa ebigezo ne mu kiseera nga biwedde
Rev. Fr. Ben Wakabi, asibiridde entanda abayizi abagenda okutuula S6 n'abasaba olutalo lw'okuyitira waggulu ebigezo  okulukwasa Katonda bongereko n'okwekkiririzaamu ne kye baasoma kibawonye emize gy'okubba n'okukoppa ebigezo.
Fr. Wakabi, nga y'avunaanyizibwa ku bavubuka mu Ssaza ly'e Jinja yagambye nti, aba S6 okutuuka ku ddaala lye baliko kabonero akalaga nti, Katonda ababeereddewo kuba waliyo bangi abalemwa okutuuka awo, noolwekyo olutalo lw'okuyitira waggulu ebigezo  basaanye balulekere Katonda kyokka n'abakuutira nabo bakole ogwabwe omuli obutagayaala kusoma, okwebuuza ku basomesa, okuwandiika obulungi, okugoberera amateeka g'ebigezo n'ebirara bingi bye bayiseemu nga babasomesa kubanga Katonda ayamba yeeyambye.
Yayongeddeko nti, buli lw'osaba Katonda akuwe obuwanguzi, amaaso ge gabeera galaba, amatu ge gabeera gawulira ssaako n'enzigi  okubeera enzigule n'abakuutira okubeera  abagumu era abamalirivu ku lutalo lwe bagendako.
 r akabi ngava okusabira abayizi Fr. Wakabi ng'ava okusabira abayizi

 

Yabadde ku ssomero lya Seeta High Mukono Campus ku Lwomukaaga gye yakulembeddemu ekitambiro kya mmisa okusabira abayizi abagenda okutuula ebigezo bya S6 n'ab'ekyomusanvu aba Seeta Junior Mbalala.
Yasabye abazadde okuteeka eriiso ejjogi ku baana baabwe mu luwummula naddala  abagenda okumalako S4 ne S6. Babatangire  obubaga bw'ebikujjuko nga tebalina bukuumi bwa bazadde gye bayinza okufunira emize omuli okunywa omwenge, okubatangira okulaba firimu z'obuseegu, kubanga  bino biyinza okuvaako okwonoona ebiseera byabwe eby'omu maaso.
Yajulizza nti, waliwo omuzadde n'okutuusa kati eyejjusa bwe yawa omwana ebbeetu n'agenda okucakala n'afunirayo olubuto kyokka omuzadde bwe yali agezaako okulumuggyamu n'afa kyokka ebigezo byagenda okukomawo ng'omugenzi ayitidde waggulu  era nti n'okutuusa akati ebigezo buli lwe bikomawo omuzadde abeera mu maziga. 
Yakubirizza abazadde baleme okufuula abaana baabwe bakama baabwe wabula babakubirize okukola nga tebasosola mirimu kasita gibeera nga ginyiiza Katonda ebibuuzo bituuke okudda nga balinawo ku ssente omuzadde z'asobola okwongerezaako okwongera mu maaso okusoma.
Yawadde ekyokulabirako ky'ensi ya Amerika eyeegombesa nti, eno bakubiriza abaana okukola era ku myaka 21 babeera tebakyasula mu  nyumba za bazadde baabwe.
Omukulu w'essomero lya Seeta High Mukono Campus, Bonifance Ssebukalu yakubiriza abazadde okwongera okuzimba omusingi gw'okutya Katonda mu baana baabwe kibatangire emize egyonoona ebiseera byabwe eby'omu maaso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...