
BANNABYABUFUZI ne bannaddiini bakaabye bwe baabadde baziika munnaabwe Charles Kituuka. Omugenzi Kituuka yaziikiddwa ku Lwokutaano e Kasanje. Abadde ssentebe wa NRM atwala Kasanje.
Yali kkansala ku eggombolola y'e Lubaga. Abadde mukulembeze mu kkanisa e Kabuusu era yali akiika mu lukiiko ku Lutikko e Namirembe.
Yafudde bulwadde bwa kansa ku Lwokubiri. Bumulumidde ebbanga era gye buvuddeko Pulezidenti Museveni yamutumira Ssaabawandiisi w'ekibiina Kasule Lumumba okuyambako mu by'obujjanjabi. Okusaba kwakulembeddwa omulabirizi eyawummula Samuel Balagadde Ssekkadde.
Katikkiro wa Buganda eyakiikiriddwa ow'essaza Busiro, Charles Kiberu Kisiriiza yatenderezza emirimu gya Charles Kituuka gy'akoledde Obwakabaka naddala okukulira omulimu gw'okusonda Ettoffaali mu kitundu ky'e Kasanje kyonna.