
Rema (wakati) ne ba maama be. Mukyala Mabiriizi ku kkono. Baali ku mukolo gw'okukyala kwe, nga October 9, 2019.
Bya PONSIANO NSIMBI
MU maka awagenda okubeera okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula ne bba Hamza Sebunya embeera ya keetalo.
BukeddeOnline yatuuseeko mu maka gano n'esanga ng'ekifo kiri mu kuyooyootebwa, abasiizi ba langi, abayoola kasasiro, abazimbi abakola ku by'okwerinda abasaawa amakubo agatuuka mu maka gano nga buli omu ali keetalo.

Amaka gano agatemya ng'omuntu ga mwami n'omukyala Francisco Ssemwanga nga gasangibwa Nabbingo mu Bataka era ng'omukyala yeyanjudde nga "maama wa Rema."
Okuyingira mu maka gano osooka kulaba asikali era ng'ono okukiriza okuyingira alina okufuna olukusa okuva ewa mukamawe.


Emirimu gy'okuyooyoota gugenda bukwakku.
Amaka gano gaazimbibwa mu ngeri ya njawulo era nga galina ggeeti bbiri ennene ng'emu yeyambisibwa abasula mu maka gano ate endala abagenyi ababa bayitiddwa ku mikolo egy'enjawulo.
Ng'amaka agazimbibwa ku pulaani, omuntu ali ebweru tayinza kulaba kiri munda kubanga ekikomera kiwanvu ddala nga bwobeera ebweru ennyumba oba ogirabako kitundu kya waggulu kyokka.


‘'Enteekateeka zonna zitambula bulungi kati tulinze lwa November 14, 2019 kyetinde ‘'Omu ku booluganda lwa Rema bwe yategeeezezza
Yakkaatiiriza ng'omutu atalina kkaadi bwatagenda kukirizibwa kwetaba ku mukolo guno nga nenyambala ya bantu bonna erinaokubeera ng'ewesa omukolo ekitiibwa nga ku kino ne bannamawulire abafuna kkaadi abasabye okugoberera enjambala ey'enoono.
Abagenyi basuubirwa okutandika okutuuka ku ssaawa 5:00 ez'okumakya.

Ekikomera ky'amaka awagenda okuba okwanjula kwa Rema.

Ekikomera nakyo kiddiddwaamu.
AB'OKUKYALO 15 BAYITIIDDWA
"Maama wa Rema" yategeezeza nga bwe bayise abatuuze 15 nga bano bebamu ku mikwano gya famire eno.
Olw'embera y'omukolo tetusobola kuyita buli omu era tusaba abataayitiddwa okutusonyiwa.

Ssentebe w'ekyalo, Godfrey Mugerwa yagambye nti y'omu ku bagenyi abayite ku mukolo guno nga ne kkaadi yagifuna dda kyokka yagambye nti okusinziira ku kkaadi gyalina eriko ennamba y'emmeza kwalina okutuula nga kijja kuba kizibu omuntu ataayitiddwa okugwetabako.

Rema bwampita ku mikolo ng'enda - Kenzo

Ebirala ku Rema, Kenzo ne Hamza
Rema alonze olukiiko olutegeka emikolo n'omwami we omupya
Rema ayogedde ne Kenzo ku ssimu
Okukyala kwa Rema Namakula mu bifaananyi