TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi b'amasimu balonze akakiiko okununula emmaali yaabwe

Abasuubuzi b'amasimu balonze akakiiko okununula emmaali yaabwe

Added 4th November 2019

Abasuubuzi b’amasimu mu Kampala, poliisi n’amagye be baatwalako essimu zaabwe mu kikwekweto ekyakolebwa nga October 23, 2019 balonze akakiiko k’abantu munaana okununula emmaali yaabwe.

 Hilary Ssempala ssentebe w'abasuubuzi b'amasimu mu ggwanga ate atwala Mutaasa Kafeero ng'annyonnyola abasuubuzi.

Hilary Ssempala ssentebe w'abasuubuzi b'amasimu mu ggwanga ate atwala Mutaasa Kafeero ng'annyonnyola abasuubuzi.

ABASUUBUZI  b'amasimu  mu Kampala, poliisi n'amagye be baatwalako essimu zaabwe mu kikwekweto ekyakolebwa nga October 23, 2019 balonze akakiiko k'abantu munaana okununula emmaali yaabwe.

 mmanuel asinzigwa omu ku basuubuzi ngannyonnyola kye bateekeddwa okuzzaako Emmanuel Gasinzigwa omu ku basuubuzi ng'annyonnyola kye bateekeddwa okuzzaako.

 

Baatuuzizza olukiiko ne bakkaanya okussa akazito ku Poliisi okubaddiza essimu zaabwe nga balumiriza nti zonna ezaawaambibwa baazisuubula mitala wamanyanja era balina n'ebiwandiiko byazo.  

Hillary Ssempala yalondeddwa okukulira akakiiko k'abantu omusanvu akaaweereddwa obuvunaanyizibwa bw'okwogerezeganya ne poliisi okulaba ng'essimu z'abasuubuzi zivaayo baddemu okukola. 

 bamu ku basuubuzi nga bateesa Abamu ku basuubuzi nga bateesa.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yategeezezza bannamawulire nti, baatwala essimu 2,500 okuva ku basuubuzi ku bizimbe bya Mutaasa Kafeero, Kalungi Plaza, Gazaland ne Cooper Complex era zonna poliisi ekyazirina.

Okusooka waabaddewo okusika omuguwa oba okulonda kubeerawo oba nedda ng'abasinga baagala olukiiko olupya olukulembera abasuubuzi ku kizimbe ate ng'abalala bagamba balonde akakiiko ak'ekiseera basooke baggyeyo amasimu gaabwe oluvannyuma balonde nga bamaze okuwandiika abasuubuzi bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...