TOP

Omuyizi atabuse omutwe ng'akola ebibuuzo

Added 5th November 2019

Omuyizi atabuse omutwe ng'akola ebibuuzo

 Omuyizi Maria Goreth Naggayi eyatabuse omutwe.

Omuyizi Maria Goreth Naggayi eyatabuse omutwe.

EBIGEZO by'ekibiina eky'omusanvu bitandise bulungi okwetooloola eggwanga okuggyako amasomero agamu agaafunyemu okutaataaganyizibwa.

E KYOTERA OMUYIZI ATABUSE OMUTWE N'AYUZA EMPAPULA

Waabaddewo akasattiro ku ssomero lya St. Stephen's Buyiisa Primary School mu ggombolola y'e Kirumba e Kyotera, omuyizi Maria Goreth Naggayi bwe yatabuse omutwe ng'atunudde ku kigezo ky'okubala. Bakira aleekaanira waggulu nga bwakuba entebe ekyaleeseewo okutya mu bakuuma ebigezo. Omuyizi ono abadde asomera ku ssomero lya Lutunga Primary School, ng'e Buyiisa baabadde bagenze kukolerayo bigezo.

Abadde mulamu bulungi ebbanga lyonna wabula nga yatandika okutabuka ku Lwokutaano nga bali mu ‘Briefi ng'. Yeewuunyisizza abasomesa abaamubaddeko bwe yabasabye okumuwa cipusi, sooda n'omugaati omunene alyoke akakkane akole ebibuuzo.

Akulira ebyokulambula amassomero e Kyotera, Peter Ntalagi Sserunjogi yaategeezezza nti mu Kyotera baafunyeemu okusoomoozebwa naddala ku ntambuza y'ebibuuzo mu bifo ebyenjawulo kw'ossa obuzibu nga buno obwaabadde ku ssomero e Buyiisa ne gye byatuuse ng'obudde buyise!

 Abasomesa nga bagabira abayizi ba Nyenga Boys emmere.

Ku Pride Nursery & Primary School e Nsambya - Gogonya abayizi 10 baakonkomalidde wabweru w'ebizimbe bwe baasanze ng'essomero liggale. Baategeezezza nti baasasula 90,000/- ez'okwewandiisa, omukulu w'essomero lino Asadu Mubiru n'abawa ne Index number kwe balina okukolera ebigezo.

Baategeezezza nti ku Lwomukaaga baawulira oluvuuvuumo nga bwe batagenda kukola bigezo kwe kweyambisa yintanenti okukebera amannya gaabwe ne basanga ng'obufaananyi obuliyo ssi bwe bwabwe.

Akola ku byokwerinda ku kyalo kino, Siraje Kazibwe yategeezezza nti Mubiru abadde n'amabanja mangi nga kirabika kye kyamuviiriddeko okulya ssente z'abayizi bano.

Kyokka n'agamba nti ne nnannyini ssomero yeetaaga okukwata kubanga buli ekibadde kigenda mu maaso akimanyi nga n'ebisale by'essomero yaabisolooza. Ye nnannyini ssomero, Musa Mbaziira yasabye abazadde okubeera abakkakkamu n'agamba nti agenda kutuuza olukiiko lw'abazadde, abayizi baddemu basome omwaka ogujja ku bwereere.

Mu kiseera kino Mubiru aliira ku nsiko nga ne Mbaziira ayogerera ku ssimu talabikako. MU KAMPALA BITAMBUDDE BULUNGI Mu masomero g'omu Kampala ebigezo bitambudde bulungi era abakulu b'amasomero be twogeddeko nabo bagumu nti bijja kuggwa bulungi.

Ku Bat Valley ebigezo byatandise ku ssaawa 3:00 zennyini okusinziira ku mukulu w'essomero lino James Wonyaka ng'era abayizi basatu bokka tebaalabiseeko.

Ku Buganda Road Primary School, ebigezo byatandikidde mu budde era akulira essomero lino David Ssengendo yagambye nti abayizi bonna 308 nga bwe baawandiisibwa baatudde ebigezo.

Ku Old Kampala Primary School, nawo ebigezo byatandise bulungi. Omukulu w'essomero Sarah Nakkazi yagambye nti baawandiisa abayizi 140 kyokka abayizi 4 tebaalabiseeko.

Ku St. Peters Nsambya nawo ebigezo bitambudde bulungi nga wano we waatuulidde abayizi abasinga obungi mu ggwanga lyonna. Bali 545 era okusinziira ku mukulu w'essomero Francis Ssennabulya bonna abayizi nga bwe baawandiisibwa baatudde ebigezo bino.

Ku Nakivubo Blue Primary School we twatuukiddewo ku ssaawa 3:30 abayizi baabadde tebannatandika kukola bigezo, wadde nga bannaabwe ku masomero amalala baabadde baatandise dda.

MBARARA E Mbarara ebigezo byatuuseeyo bulungi era abayizi we zaaweredde ssaawa 12:00 ez'oku makya abaserikale ba Military Police baabadde bamaze okubikwasa akulira ebigezo mu Mbarara Geoffrey Birungi. Birungi yategeezezza nti e Mbarara wabadde tewannabaayo buzibu bwonna era ng'asuubira nti bijja kutambula bulungi kubanga ebyokwerinda bya maanyi.

BUIKWE Abayizi ba Nyenga Boys mu disitulikiti y'e Buikwe, ababadde bayambibwako Bukedde, ebigezo baabitandise bulungi. Baatutegeezezza nti Bukedde okubawa ebyeyambisibwa mu bigezo kijja kubayamba okuyitira waggulu ebibuuzo.

Baaweereddwa emikebe egikozesebwa mu kubala, kkalaamu n'ebirala ng'abawala baaweereddwa eby'okweyambisa ssinga wabaawo agenze mu nsonga z'ekikyala. Baaweereddwa ne sooda ow'okunyweranga ku mmere okumala ennaku bbiri nga bakola ebigezo.

E JINJA EBIGEZO BITANDISE KIKEEREZI

Abayizi ku masomero agamu ebigezo baabitandise ku ssaawa 4:00 oluvannyuma lw'emmotoka eyabadde ebitwala okutubira. Akulira ebyenjigiriza e Jinja, Paul Mugaju Baliraine yategeezezza nti amasomero agaakoseddwa kwabaddeko Kagoma, Muguluka, Idoome ne Namarere. Ekigezo ky'olweggulo baakiyingidde ku ssaawa mwenda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...