TOP

Ebintu 12 ebisibye obwassekibotte mu kisenge

Added 5th November 2019

Ebintu 12 ebisibye obwassekibotte mu kisenge

 

AKABOOZI ye nnamuziga etambuza obufumbo, oba oyinza okukageraageranya ku munnyu, anti gwe guwoomesa enva. Noolwekyo bwe kabulawo oba bwe kafuuka ak'ebbalirirwe, obufumbo buyinza okutandika okuyuuga.

Wadde abasinga tukimanyi nti abasajja baagala nnyo okwegatta, era nga ne bannassaayansi bakikkaatiriza nti abasajja bayoya nnyo akaboozi okusinga abakazi, ennaku zino abakazi abamu beesanga ng'abasajja baabwe tebakyayagala bya kwegatta. Embeera eno ennaku zino nnyingi mu bafumbo naddala obufumbo nga tekyawula abakyali mu myaka gy'ekivubuka n'abakuze.

Abafumbo tebakyanyumya kaboozi, abasajja baakowa dda okwegatta ne bakyala baabwe ekintu eky'obulabe eri obufumbo bwabwe. Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu yagambye nti emirundi mingi abakazi banguwa okwekubamu ttooci okuzuula ogubadde, era ne bakyusaamu we kiba kyetaagisizza.

Wabula ekizibu nti embeera eno oluusi eba eva ku musajja yennyini nga y'alina okwetereeza. Mukisa yagambye nti ebimu ku bireese embeera eno mulimu;

1 Abakazi abamu tebasikiriza mu buliri. Mu butonde abasajja baagala nnyo ebipya buli lunaku naye kino abakyala abamu kyabalema okutegeera .

Omusajja yeegatta naye kyokka ng'omukazi talina kapya k'aleetayo. Omusajja yeetaaga akomewo nga waakiri wakyusizza ku kisenge era ajja kulaba nti waliwo ekipya era kijja kumuteeka mu2 mbeera.

Omukazi bw'aba takyatuukiriza buvunaanyizibwa bwe. Omukazi okwagalwa bba era n'atuukiriza byonna ebimusuubirwamu alina okukola byonna bba by'amusuubiramu. Bw'aba takyabikola, okugeza tayonja waka, talabirira baana, omusajja amwetamwa n'abeera nga takyayagala kwegatta naye.

3 Ebikolwa by'abakyala ebyesittaza abasajja. Okugeza ssinga omukazi yeenyigira mu by'ekirogo nga bba tabyagala, omusajja atuuka ekiseera ng'atya okwegatta naye era eby'okwegatta n'abiviirako ddala.

4 Obwenzi. Wadde abasajja abamu kino tekiba kituufu, naye emirundi mingi omusajja bw'atandika obutayagala kukiika waka, weesanga ng'alina gy'asookera. Wabula nga tonnamukazakkaza, sookweetegereze ensonga era ofuneyo n'obubonero obukakasa nti ddala alina ebweru omuntu omulala gwe yeegatta naye, olyoke obimutunuzeemu.

5 Okubulwa amaanyi agasituka. Ekizibu kino kituuka mu basajja naye ebiseera ebisinga ne bakisirikira. Olw'obutayagala kubuulira baagalwa baabwe basalawo butanyega ku bya kwegatta kubanga abeera atya okuswala mu maaso g'omukazi, okutandika ensonga ate n'alemwa okuziggusa. Omusajja alina ekizibu kino ojja kwesanga ng'amala ebbanga nga teyeegasse na muntu yenna olw'okuba tafuna maanyi gasituka.

Wabula kino tekitegeeza nti akyaye mukazi we, nedda. Aba ayagala okwegatta wabula ng'amaanyi g'atalina. Embeera eno oluusi ereetebwawo situleesi, eddagala lya puleesa, abalina amasavu mu misuwa, n'endwadde endala. Ekirala ekizibu kino oluusi kibaawo omusajja gye yeeyongera okukula. Ekibi nti oluusi n'okukirowoozaako nti tacamuka, ate kimulemeseza ddala okulowooza ku by'okwegatta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo