TOP

Omukka gugobye abantu mu kibuga Dehli

Added 5th November 2019

GGWE akyali mu Uganda ng’olina omukka gw’ossa weesuneko. E Buyindi abantu boolekedde okufa ekiziyiro ate abanaasimattuka bafune ebirwadde ebiva ku kussa empewo ejjudde kacica.

 Abaana nga beesabise ennyindo

Abaana nga beesabise ennyindo

GGWE akyali mu Uganda ng'olina omukka gw'ossa weesuneko. E Buyindi abantu boolekedde okufa ekiziyiro ate abanaasimattuka bafune ebirwadde ebiva ku kussa empewo ejjudde kacica. 
 
Ab'ebyobulamu balagidde abantu okweggalira mu mayumba gaabwe bakozese ebyuma ebisengejja empewo, amasomero bagawadde ennaku mbale gaggalewo abaana badde  eka n'emmotoka enkadde ezifuuwa erikka baziweze mu kibuga.
 
Emmotoka ezinakkirizibwa okuyingira ekibuga bagenda kuzibala bakkirizeeko ntono eziteewalika. Abo abalina okutambula nga tekyewalika, gavumenti ebagabidde obukampa bwe babikka ku nnyindo omukka guleme kubayingiramu nga bassa.
 
Abatasobodde kubufuna bakozese obutambaala bwe basiba ku mimwa n'ennyindo kyokka ekyeraliikiriza nti obumu bucaafu nga nabwo buyinza okuvaako endwadde. Ebirala mu Bukedde w'enkya ku muko gwa 'Ensi mawuuno'.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...