TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebipapula bya sseminti kwe nsomedde n'abaana bange

Ebipapula bya sseminti kwe nsomedde n'abaana bange

Added 6th November 2019

Ebipapula bya sseminti kwe nsomedde n’abaana bange

 Odwori ng’alaga ekifaananyi ky’enjovu n’embogo bye yakola.

Odwori ng’alaga ekifaananyi ky’enjovu n’embogo bye yakola.

ABAVUBUKA bangi okuyiiya okulaba bwe bafuna ssente kuvuddemu abamu okukola ebintu ebiyamba okukuuma obutonde bw'ensi ate n'okukola bizinensi nga tebataddeemu ssente nnyingi.

Gerald Odwori 29, omutuuze w'e Bunnamwaya - Ngobi mu disitulikiti ya Wakiso abantu abamu balowooza nti mulwadde wa mutwe bwe bamulaba akuhhaanya ebipapula bya sseminti ku nnyumba ezizimbibwa so ng'alonda bugagga.

Alaga by'akola mu bipapula by'alonda by'agamba nti bimuyambye okukyusa obulamu bwe: Bwe nali nsoma dipuloma mu ssomo lya Art and Design mu ttendekero lya Michelangelo College of Creative Art e Kisubi, omusomesa yatugamba nti, omuntu omuyiiya ateekeddwa okukozesa ekintu abantu abalala kye batalaba nti kyamugaso n'akifuula eky'amakulu.

Bwe nneegatta ku yunivasite y'e Kyambogo, bazadde bange baali bamufunampola nga ssente ezimpeerera zibeekupya mpi era natandika okugaziya obwongo okulaba bwe nfuna ssente nsobole okuwewula ku bakadde bange.

Nasobola okukwatagana n'omuyizi Nicholas Arinaitwe eyali abumba ebibumbe mu kkanisa ez'enjawulo ne mmufuula mukwano gwange okusobola okufuna obumanyirivu mu mulimu gwe nasomerera ogw'okubumba. Namuyigako bingi era oluvannyuma nafuna obwongo obwokutandika okuyiiya okukola ebintu eby'enjawulo mu bipapula bya sseminti wadde entandikwa teyali nnyangu.

Natandika okugendanga ku mayumba agazimbibwa nga nkuh− haanya ebipapula ebiweddemu sseminti era abantu abandabanga bampitanga mulalu, baatandika okwewuunya oluvannyuma lw'okulaba omulimu gwe mbikozesa nga mulungi era kati bye biyimirizzaawo obulamu bwange, amaka gange ne bakadde bange kwe mbalabirira.

OKU SALAWO OKUK OZESA EBIPAPULA BYA SSEMINTI

Engeri gye saalina ssente nagenda okulaba ng'ebipapula bya sseminti nsobola okubifuna ku bwereere. Ekirala byangu okufuula ekintu ky'oyagala engeri gye byanguwa okufunya.

Ebipapula bifuula omulimu omulungi era omwangu ne gunyirira mu buli mbeera yonna gy'ogwagalamu. Okweyambisa ebipapula kiyamba omuntu okufuna obumanyirivu mu kukola by'ayagala nga teyeeraliikirira kwonoona kuba asobola okukikyamya n'akiggyayo n'addamu okukikozesa.

EBIKOZESEBWA OKUK OLA EBINTU BINO Nneeyambisa ebipapula bya sseminti. Obuwunga bwa muwogo kkiro emu njigula ku 1,200/-. Langi ez'enjawulo ze ngula wakati wa 5,000/- ne 10,000/-.

Obutimba bwa 3,000/-. Langi esiigibwa ku byuma ya 10,000/-ENKOZESA YAABYO 1 Obutimba buyamba okukola ne buggyayo endabika y'ekifaananyi ky'oyagala okukola okugeza ekinyonyi, ekimuli, omutwe gw'omuntu, ekitabo n'ebirala.

2 Ebipapula bya sseminti bikozesebwa okukola omubiri, bino obyetoolooza ku katimba ne bikola omubiri gw'ekintu ky'oyagala okukola.

3 Obuwunga bwa muwogo buyamba okusiba ebipapula bya sseminti ku katimba ne binywera bulungi era obuleka ne bukala.

4 Oluvannyuma lw'okukala obulungi tandika okukisalamu ebitundu by'omubiri ebiraga enkula y'ekintu ky'okola okugeza okulaga amaaso, ennyindo, emimwa, obulago, amatu, ebigere n'ebitundu ebirala eby'enjawulo.

5 Oluvannyuma siiga langi ez'enjawulo eziba zisaanidde okugendako okusobola okukirabisa obulungi.

EBBEEYI YAABYO Mbitunda okusinziira ku bunene bw'ekintu kye nkoze, ekitono ekisookerwako nkitunda wakati wa 100,000/- ne 150,000/- ate ekinene 200,000/- ne 400,000/- okutuuka ku 800,000/-. Abaguzi abamu bajja oluvannyuma lw'okulaba bye nkoze, n'abalala babalagirira ne bansaba okubakolera.

Mbitwala ne ku myoleso ng'eno nfunayo akatale kanene wadde abamu babeera tebaguliddeewo naye oluvannyuma bajja. Waliwo abagagga abantwala okubakolera ebintu bino mu maka gaabwe.

BYE NFUNYEEMU l Nsobodde okweweerera ku yunivasite ne mmaliriza emisomo gyange. l Ze nkozesa okulabirira amaka gange, omukyala n'abaana. l Nfunye emikwano mingi egimpagira mu kungulako n'okumpa amagezi agannyamba okutereeza we kyetaagisa n'okulinnyisa akatale.

l Nsomesezza abavubuka bangi okukola omulimu guno ekinsanyusa nti nange nnina kye nyambyeko mu kukendeeza ku bbula ly'emirimu abasinga lye bakaaba ng'ate ebisobola okuvaamu ssente.

l Mu kapito owa 30,000/- gwe nnatandisa avuddemu ssente eziri mu bukadde ze nkozesa kati. abasinga okukozesa ebibumbe bino mulimu abantu abali mu ofiisi ez'enjawulo, abantu abalina amaka amanene, abaagala okuteeka mu makuumiro g'ebitabo, mu kkanisa n'ebifo ebisanyukirwamu ebirala bingi naddala wooteeri ennene.

Okusoomoo zebwa Mu kiseera ky'enkuba nfuna obuzibu bungi ne ntuuka n'okufiirwa ssente kuba empapula ze nsiba n'obuwunga bwa muwogo zitwala obudde bungi okukala oluusi ne bivunda ekibyonoona.

Abantu abandaba nga nnonda ebipapula bya sseminti mu bintundu eby'enjawulo nga tebamanyi kye nkola bampita mulwadde wa mutwe ekimpisaamu obubi oluusi wadde hhenda nkimanyiira mpola.

BYE NSUUBIRA OKU FUNAMU

Nsuubira okukola essomero nga nsomesa naddala abavubuka mu kukola ebintu bino. Njagala okutandika okufuna emirimu n'okubisuubuza mu mawanga ag'omuliraano omuli Rwanda, Kenya, Tanzania, Sudan ne Congo. Nkubiriza abavubuka okuzuula ebitone baleme okutya okukkakkanyizibwa wabula atunuulire nnyingiza ya ssente basobole okweyimirizaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...