
Abazadde mu lukiiko
Bya Vivian Namagembe
Abayizi ba P7 ku ssomero lya Pride Nursary and Primary School Nsambya tebaatudde bigezo.
Ku lunaku lw'ebigezo bya PLE abayizi baasangibwa nga bakonkomalidde wabweru w'ebibiina olw'okusanga essomero nga liggale kyokka nga n'abasomesa tekuli wadde n'omu.

Embeera eno yavuddeko abazadde okuva mu mbeera ekyawalirizza ssentebe w'omu kitundu Sam Matovu atwala Gogonya Zooni I okuyita olukiiko okukkakkanya embeera.
Mu lukiiko luno abazadde baalumirizza okusasula z'abayizi okwewandiisa okukola ebigezo wabula kyababuuseeko obutakola. Balumiriza omukulu w'essomero Hassadu Mubiru okudduka oluvannyuma lwabayizi okutandika ebigezo.
Mu lukiiko lwe lumu mwabaddemu bamane lenda abaakulembeddwaamu Kigongo Kawagga nga bagamba nti babanja Mubiru 2,450,000/- bwe baamuwola
Abamu ku bazadde baalaajanidde ssentebe ne bekikwatako okubayamba okunoonya omukulu w'essomero ne dayirekita abaalya ssente z'abaana baabwe ne balemwa okutuula ebibuuzo ekintu ekigootaanyizza eby'ensoma by'abaana.
Ssentebe yawadde abazadde amagezi batwale abaana baabwe mu masomero amalala nga bwe banoonyereza ku bakulembeze b'essomero abadduka.
