
Akatale k'e Kasubi kanaatera okuggwa
ABASUUBUZI mu katale k'e Kasubi beemulugunya ku bufunda bw'akatale akaabazimbiddwa KCCA nti ekifo awali akatale akapya kifunda nnyo okusinziira ku muwendo gw'abantu abalina okukoleramu.
Embeera eno ebaviiriddeko okufuna obweraliikirivu ng'akatale tekannaba kuggwa kuba bangi bandifikkira ne batafuna midaala gye baludde nga beesunga.
Abasuubuzi bano baludde nga bakolera mu mbeera ey'okunyigirizibwa omuli; okutawaanyizibwa KCCA, obweraliikirivu bw'okufunira obubenje ku luguudo, enkuba n'omusana.
Gavumenti ng'eyita mu kitongole kya KCCA, baatandiise okuzimba akatale mu kifo ekirala. Wabula ekisinze okubobbya abasuubuzi emitwe, balaba nti akatale akazimbiddwa kafunda okusinzira ku bwetaavu n'omuwendo gwabwe.

Ronald Zibu ssentebe w'abasuubuzi mu katale, ategeezezza nti ekimu ku bifunzizza ekifo awaazimbiddwa akatale ye bbugwe eyazimbiddwa okwetooloola akatale. "Mu kifo we tubadde tukolera, tubadde n'abasuubuzi abasoba mu 1,483 era be basuubirwa okukolera mu katale akapya kyokka tulina abantu abasoba mu 400, abateewandiisa noolwekyo tabalina midaala mu katale akapya", Zibu bwe yategeezezza.