
Kusasira ng'awuliriza ebizibu by'abakolera mu lufula y'oku Kaleerwe. Mu mugongo gwe ye DJ Michael.
OMUYIMBI Catharine Kusasira ebibye byongedde okutereera era nga kati akamirwa bina. Siteeriingi y'emmotoka takyamanyi gye baginyoolera wadde okwesaggulira ekkubo byonna bikolebwako baserikale n'abayambi abaamuweereddwa.
Kusasira bwe yabadde agenze okusisinkana abasuubuzi b'omu lufula ku Kaleerwe okuwuliriza ebizibu byabwe bikolebweko obwedda abaserikale abali mu ngoye ezaabulijjo n'ebyambalo ebiddugavu bamutambulizaako amaaso buli wadda ate bwe yatuuse okusimbula omuserikale ow'emmundu yasoose kuddukira ku mmotoka ye okukakasa nti, tewali muntu mubi yenna agoberera.
Abasuubuzi abasinga baalabye nga Kusasira alabika ye mutuufu okutuma ewa Pulezidenti baamukubye obwama ne bamubulira ebizibu byabwe ng'ebisinga byabadde bya ssente.