TOP

Aba LDU baakulambibwako amannya gaabwe

Added 7th November 2019

ABA LDU bakuweabwa ennamba n'okuwandiika amannya gaabwe ku yunifoomu zaabwe ng’emu ku nkola y'okuzuula abasiwuufu b'empisa.

Lt. Col. Hassan Kalungi avunaanyizibwa ku by'okukwasisa empisa mu baserikale ba LDU  ng'ayogera eri abatuuze b'e Kamwokya mu lukungaana lw'ebyokwerinda olwetabiddwaamu n'abaserikale  ba poliisi ya Kira Road.

Lt. Col. Hassan Kalungi avunaanyizibwa ku by'okukwasisa empisa mu baserikale ba LDU ng'ayogera eri abatuuze b'e Kamwokya mu lukungaana lw'ebyokwerinda olwetabiddwaamu n'abaserikale ba poliisi ya Kira Road.

Bya HENRY KASOMOKO

 ABA LDU bakuweabwa ennamba n'okuwandiika amannya gaabwe ku yunifoomu zaabwe ng'emu ku nkola y'okuzuula abasiwuufu b'empisa.

 Bino ebiragiro bya botoddwa Lt. Col. Hassan Kalungi bwe yabadde asisinkanye batuuze b'e Kamwokya mu kaweefube ab'amagye gwe baliko ne poliisi okulaba nga bakendeeza obumenyi bw'amateeka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

 Olukungaana luno lwagendereddwaamu okumanyisa abatuuze engeri gye basobola okumanya obukodyo  bwe bayinza okweyambisa nga balwanyisa n'okumalawo obumenyi bw'amateeka mu bitundu byabwe.

Kalungi abantu baamuloopedde abaserikale ba LDU bebagamba nti basusizza okusiiwuuka empisa nga bakola emirimu gyabwe ng'abatuuze bamunokoleddeyo ne munnaabwe Moses Baluku abadde yakattibwa aba LDU mu bitundu bya Mulimira abatuuze gwe bagambye nti abaserikale bano bamusanga adda wakka.

 Kalungi yabaanukudde nti kituufu aba LDU abamu balina obusiiwuufu bw'empisa kyokka n'asaba  abantu obutakoma ku kubogeerako bwogezi wabula okubatuukiriranga buli bwe babeera babatulungunyizza okubanguyiza  omulimu gw'okubavunaana.

 Yanokoddeyo amateeka aba LDU ge bagenda okubateekako omuli, okuteeka amannya gaabwe ku bya mbalo byabwe n'ennamba okwanguyiza oyo gwe babeera bakozeeko obuzibu okumwawula obulungi, bakukola patulo nga bali ne poliisi y'omukitundu abasentebe oba abakulira ebyokwerinda mu bitundu nti kubanga bebabeera bamanyi bobulungi bantu, n'okunoonyayo enkola mwebagenda okubawulira  mu bibinja  nga singa  ekikolobero kikolebwa mu kitundu  bakama baabwe bamanya nti eki kibinja  bwekiti n'ebirala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe wa LC V e Buyende Robert Ziribasanga ng’alambuza ababaka ba palamenti woodi y’abakyala etaggaddwaawo.

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekku...

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu erijjanjaba abalwadde abasoba mu 3,000, liggaddwaawo oluvannyuma lw'abasawo 24 okusangibwa...

Amaka ga bazadde ba Lukwago e Kabungo.

Batidde bazadde ba Lukwago ...

ABOOLUGANDA lwa Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago abaasangiddwa e Kabungo mu ggombolola y'e Kyamuliibwa e Kalungu...

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...