TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakoonye ennyumba 4 olw'omusamize agambibwa okusaddaaka omwana wa ssentebe

Bakoonye ennyumba 4 olw'omusamize agambibwa okusaddaaka omwana wa ssentebe

Added 7th November 2019

Abatuuze batabukidde abooluganda lw'omusamize agambibwa okusadaaka omwana wa Ssentebe ne bakoona ennyumba zaabwe wamu n'kuboonoonera ebirime.

 Abatuuze nga bagajjambula Baziiwe mu lukiiko. EBIF: FLORENCE TUMUPENDE

Abatuuze nga bagajjambula Baziiwe mu lukiiko. EBIF: FLORENCE TUMUPENDE

 

 Bya FLORENCE TUMUPENDE

Abatuuze ku byalo bibiri okuli Kibimba A ne Kibimba B baavudde mu mbeera ne bakoona ennyumba nnya ez'abooluganda lw'omusamize, Justus Ayinebyona eyasaddaaka omwana wa ssentebe, Vanasio Mutambuka awamu n'okwonoona n'ebirime okuli ebitooke.

Deus Tumwebaze (10) ye yasaddaakibwa nga  August 29, 2019 bwe yali agenze ewa kkojja we.

Abatuuze okuva mu mbeera kiddiridde abooluganda lw'omusamize ono okubekwekamu mu lukiiko  olwayitiddwa obukubirire ku ngeri obunkenke gye buzeemu ku kitundu kyabwe olw'abantu abatiisatiisa taata w'omugenzi.

Kigambibwa nti ono baamuleetedde n'ekinnyonyi ekifudde nga mu kiseera kino yazibye omumwa.

   

 nnyumba ya aziiweabatuuze gye bakoonyeEnnyumba ya Baziiwe-abatuuze gye bakoonye Ennyumba ya Baziiwe-abatuuze gye bakoonye

Wano abooluganda lw'omusamize okuli eyategeerekeseeko nga Baziiwe we yaviiriddeyo n'akalambira mu lukiiko ng'alagira abatuuze bababuulire ekyalo kwe basenza abatemu gye baba balaga, ekyaggye abatuuze mu mbeera ne babagajjambula.

Oluvannyuma abatuuze badduse mu lukiiko ne balekamu ssentebe Musa Kayondo Bahati n'abakulembeze abalala, ekiruyi ne bakimalira ku mayumba okuli ey'omusamize Justus Ayinebyona, nnyina gwe bamanyiiko erya Lydia, eya Baziiwe n'ennyumba ey'omuvubuka omulala ne bazireka ku ttaka.

 eus umwebaze eyassadaakiddwaDeus Tumwebaze eyasaddaakiddwa 

 

Kigambibwa nti omusamize Justus Ayinebyona yakakasa poliisi nti ye yasaddaaka omwana wa ssentebe Mutambuka era n'abatwala gye yakweka obugoye bw'omwana nagattako nti n'e Kabaale gye yasenguka nayo yavaayo ng'asaddaase omuntu.

Ssentebe Musa Kayondo yategeezezza nti abatuuze balina obusungu okulaba ng'abantu abatta omwana waabwe  bayinaayina.

Kayondo yasabye Pulezidenti Museveni aveeyo ku nsonga y'omusamize ono kuba ekyalo kyeraliikirivu nga buli lukya wabalukawo obunkenke obulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...