TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde akola ku ssundira ly'amafuta anoonyezebwa ku misango egyekuusa ku bubbi

Abadde akola ku ssundira ly'amafuta anoonyezebwa ku misango egyekuusa ku bubbi

Added 7th November 2019

Nkurinziza abadde asula e Ssonde mu divizoni y’e Goma nga kati aliira ku nsiko, abadde akola ku ssundiro ly’amafuta erya Shell e Ssonde, era ng’abadde yaakakolerawo okumala emyaka ebiri .

 Ekifaananyi kya Musa Nkurinziza anoonyezebwa.

Ekifaananyi kya Musa Nkurinziza anoonyezebwa.

BYA JOANITA NAKATTE

Poliisi y'e Goma mu disitulikiti y'e Mukono enoonya omuvubuka Musa Nkurinziza (28) ku misango egyekuusa ku bubbi, oluvannyuma lw'okukuuliita n'ensimbi ezisoba mu bukadde obubiri.

Nkurinziza abadde asula e Ssonde mu divizoni y'e Goma nga kati aliira ku nsiko, abadde akola ku ssundiro ly'amafuta erya Shell e Ssonde,  era ng'abadde yaakakolerawo okumala emyaka ebiri .

Okusinziira ku addukanya ekifo kino, Rodgers Amani, omuvubuka ono yababulako ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde wabula  nga mu wiiki bbiri emabega, abadde yayiga emize egy'okwebulankanya ku mulimu nga bw'abalimba nti mulwadde n'ensonga endala ezitaliimu nga tebamanyi nti buno bwonna bwali bukodyo bwe bwa kwagala kubabba n'okubaddukako.

Amani yagambye nti embeera ze zaamuwaliriza okubala n'okwetegereza obulungi ebitabo by'ensimbi z'abakozi eziba zikoleddwa mu wiiki era bwe yabala mu bibye nga tebikwatagana, yawalirizibwa okumubuuza  amayitire g'ensimbi ezaali zibula mu bitabo ezaaweza omugatte ogw'obukadde obubiri kyokka n'amulimba nga ye bwe yali azitaddeyo zonna gye ziterekebwa.

Yannyonnyodde nti eky'okumubuuza amayitire g'ensimbi ezo, kyamuleetera okumanya nti bamutegedde n'abula n'aggyako essimu ze era ne we yali asula n'asengukawo oluvannyuma lwa mukama waabwe ow'oku ntikko Faith Mbabazi  okumutumya okuva gy'asula ajje abitebye, amunnyonnyole  gye yateeka ensimbi ze.

Kino kyamuwaliriza okwekubira enduulu ku poliisi n'aggulwako omusango gw'obubbi ku fayiro nnamba SD: 09/04/11/2019 era ng'amyuka akulira poliisi y'omu kitundu kino, Paul Mujuni, yasabye amulabako okumutemyaako amangu ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi  Bukomeko (ku ddyo), omulabirizi Wilson Mutebi, Minisita Nabakooba neKatuukiro wa Busoga, Joseph Muvawala.

Dr. Bukomeko ajaguzza omwak...

Omulabirizi wa Mityana, Dr. James Bukomeko alangiridde enkola, ey'okutandikawo ebintu ebivaamu ensimbi n'agamba...

Abakulembeze ba Rwampara ku mukolo.

Balaze ebiyinza okuvaako ab...

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Rwampara, Muky. Kelen Tukamuhirwe ategeezezza nti ng'abayizi beetegeka...

Kkwiini ow'emyaka 94  ne bba Philip 99.

Ebintu 8 Kkwiini wa Bungere...

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip (mu kiseera kino ali ku ndiri mu ddwaaliro) nga November 20, 1947...

Fr. Anthony Kakumba Mwanje mu Mmisa eggulo.

'Mweyambise ekisiibo mudde ...

BWANNAMUKULU w'ekigo ky'e Kitovu  Fr. Anthony Kakumba Mwanje awabudde Abakristu ababadde beesambye Omukama olw'okwetaba...

Omulabirizi Kityo Luwalira ng'asaba eggulo mu Kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya  e Bukondo.

Mudde eri Katonda kubanga l...

OMULABIRIZI w'e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira  akuutidde Abakulisitaayo okudda eri Katonda kubanga ly'ekkubo...