GAVUMENTI epondoose n'ekkiriza okussa ku mwanjo eby'okusuumusa ekibuga Masaka okuva ku munisipaali kifuuke ‘city' (site) omwaka ogujja.
Ku lukalala lw'ebubiga gavumenti bye yasooka okufulumya nti bigenda kufuulibwa ‘site' okutandika n'omwaka ogujja, Masaka teyaliimu.
Kino kyaleetawo okwemulugunya okuva mu bantu bangi omwali ne Kabaka Ronald Mutebi era olukiiko lwa baminisita lwatudde ku ntandikwa ya wiiki eno ne lukkiriza Masaka ne Mbale bibe ku mwanjo gw'ebibuga ebinaasooka okufuulibwa ‘site' kuba bikulu nnyo.
Mu ngeri y'emu minisita w'eggwanga owa gavumenti z'ebitundu, Jenniffer Namuyangu yagambye nti gavumenti terina ntegeka za kuzimba kibuga ky'eggwanga kikulu kipya okuggyako Kampala.
Bino Namuyangu yabitegeezezza bannamawulire ku Uganda Media Centre mu Kampala. Ebibuga omusanvu ebigenda okusookerwako okusuumuusibwa okufuuka ‘site' kuliko; Masaka, Mbale, Arua, Mbarara, Gulu, Fort Portal ne Jinja.
Hoima kijja kusuumusibwa mu 2021/22. Ate Lira ne Ntebe bisuumusibwe 2022/23. Nakasongora, Kabale, Soroti ne Wakiso byakufuulibwa ‘site' mu mwaka 2023/24. Okufuula Masaka ne Mbale ‘site' kugenda kuwemmenta ensimbi ezisoba mu buwumbi 11.