TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basabye Pulezidenti awummuze aba LDU olw'okutirimbula abantu abatalina musango

Basabye Pulezidenti awummuze aba LDU olw'okutirimbula abantu abatalina musango

Added 7th November 2019

Abenganda z’omusuubuzi wa mmotoka eyattiddwa owa LDU basabye Pulezidenti Museveni awummuze aba LDU olw’okutirimbula abantu abatalina musango.

 Abakungubazi nga basiibula Ssettuba

Abakungubazi nga basiibula Ssettuba

Abenganda z'omusuubuzi wa mmotoka eyattiddwa owa LDU basabye Pulezidenti Museveni awummuze aba LDU olw'okutirimbula abantu abatalina musango.

Basabye Pulezidenti Museveni awummuze aba LDU bonna, bafune okutendekebwa okumala n'abaakoze obutemu ku bantu abatalina musango bavunaanibwe.

Kino kiddiridde Jimmy Ssettuba 32, omusuubuzi wa mmotoka okukubwa essasi ku mutwe nga bamuteebereza okuba omubbi, ku loogi ya Mango Guest House E Kabuusu mu division y'e Lubaga .

 

 mugenzi settuba Omugenzi Ssettuba

 

Bino baabyogeredde mu kuziika Ssettuba e Ngomanene mu ggombolola y'e Mpenje e Gomba ne benyamira olw'okufiirwa omuntu waabwe atalina musango.

Rev. Nicholas Malembe eyakulembeddemu okusabira omugenzi yasabidde abazadde, Katonda abagumye.

Yasabye abakungubazi okuteeka eggwanga lya Uganda mu ssaala olw'ebikolobero ebisusse ng'ebimu bikolebwa abakuumaddembe ate abavunaanyizibwa okukuuma abantu n'ebyabwe naddala aba LDU ne poliisi.

 Yasabye abakungubazi beekwase Katonda mu buli kye bakola n'asaba

n'abakuumaddembe okukozesa obulungi emmundu nga zikuuma Bannayuganda so sikutirimbula bantu bannaabwe.

 Omusuubuzi eyabadde n'omugenzi nga bamutta, Ibra Kakooza yasambazze ebigambibwa nti Ssettuba yabadde agezaako kubba malaaya n'ategeeza nti malaaya ye yabadde agezaako okubba Ssetuba. Yasabye poliisi okunoonyereza ku mukazi eyavuddeko ettemu lino oba nga ddala yabadde n'ekkobaane n'abasirikale ba LDU.

 aama wa settuba ngayaziirana Maama wa Ssettuba ng'ayaziirana

 

Maama w'omugenzi, Kevin Nazziwa yanenyezza poliisi okuyita omwana we omubbi n'asaba Pulezidenti Museveni abataase ku ba LDU abatta abantu abatalina musango, bavunaanibwe wabeerewo obwenkanya.

 Omwogezi w'ekibiina ekigatta abasuubuzi ba mmotoka mu ggwanga Huudu Ssemuge yasabye gavumenti  n'ebitongole ebikuumaddembe bongere obukuumi ku basuubuzi ba mmotoka kuba balina okutya ku

bumenyi bw'amateeka n'obubbi obususse ng'ate bakola kya maanyi kubyenfuna by'eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...