TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyeeyise omusika wa Bujagaali bamututte talinnya

Eyeeyise omusika wa Bujagaali bamututte talinnya

Added 7th November 2019

OMUSAJJA asibye Abasoga ‘ekiwaani’ bw’agenze mu biyiriro n’alangirirwa nti ye musika wa Bujagali.

OMUSAJJA asibye Abasoga
‘ekiwaani' bw'agenze
mu biyiriro n'alangirirwa
nti ye musika wa Bujagali.
Abaswezi(abasamize)
abaabadde mu lumbe lwa
Bujagali baagenze kipayoppayo
awali omusajja ono
olwo eηηoma ne zitandika
okusindogoma okwaniriza
omusika wa Bujagali eyabadde
alinnyiddwa kye
baayise emmandwa.
Yategeerekese nga ye Hassan
Yiga. Yabadde tayambadde
ssaati ng'ali ku kizinga
mu mugga Kiira (Kiyira)
awakuηηaanira emizimu
n'emmandwa ebya Bujagali.
Abaswezi baakubye
eηηoma n'emikolo egyaniriza
empewo za Bujagali. Kyokka
‘omusika' yabadde tayogera
wadde okwanukula obubonero
bwabwe obwakoleddwa
okukakasa nga ye Bujagali
omupya omutuufu.
Bwe baamuzudde nga
"asiba kiwaani", kwe kulagira
poliisi eyabadde ebakuuma,
okumukwata.
Kyategeerekese
nti yavudde
Buyende
ng'aliko
omusambwa
Kasooto
ogukuuma olusozi Kasooto
okumpi n'omwalo gw'e Bukungu.
Yatwaliddwa ku poliisi
ku kitebe ky'eggombolola
Budondo.
Ssentebe w'e Budhagali,
Haruna Kapampa yategeezezza
nti bwe baalabye omusajja
mu kifo ekyo awaateranga
okutuula Bujagali, kwe kuyita
Abaswezi. Bonna baasoose
kulowooza nti omusajja ye
musika wa Bujagali kubanga
akazinga we yabadde tewali
muntu agendawo okuggyako
Bujagali.
Bujagali yafa wiiki ewedde
n'aziikibwa ku Ssande mu
ttumbi nga bwe yalaama. Entaana
mwe yaziikiddwa yaseeteezeddwa.
Omulambo gwe
gwakoleddwaako obulombolombo
nga bwe yalaama.
Omu ku bataka yategeezezza
nti ekyabazibudde amaaso
nga Yiga ‘asiba kiwaani' kwe
kumulagira okuva ku kizinga
naye n'avaayo. "Aliko empewo
za Bujagali tosobola kumuggyayo
n'omulagira kulinnya
lyato naye n'alirinnya", bwe
yagambye.
Abaswezi era batangaazizza
ku bigambibwa nti Katikkiro
wa Bujagali, Waiswa
Muyiri mulwadde
muyi oluvannyuma
lw'okulumbibwa empewo nga
kigambibwa nti aliko emikolo
gy'ebyobuwangwa gye yasobezza.
Baagambye nti kituufu
mulwadde kyokka yalwadde
ng'omuntu omulala yenna
naddala olw'okukoowa ennyo
olw'ebbanga lya wiiki
ennamba ey'okukungubagira
Bujagali gy'amaze ng'akola
emisana n'ekiro.
Era bawakanyizza ebigambibwa
nti baagobye
nnamwandu wa Bujagali
awaka.Omukulu w'ekika kino,
Misango yategeezezza nti
tewali ayinza kugoba nnamwandu
kubanga emisambwa
gye gyamuleeta era gye girina
okumuggyawo.
Kyokka yagambye nti
oluvannyuma lw'okuziika
baatuuzizza olukiiko lw'ekika
okwogera ku bugagga
bw'omugenzi n'abasika
ababiri Owenkoba (avunaanyizibwa
ku byobuwangwa)
n'anaasikira obugagga
n'omusaayi. Kyokka nnamwandu
Masitula Lukowe
Kyonaza yagaanyi okwetaba
mu lukiiko ekintu ekyatunyiizizza.
Ensonda
zaategeezezza nti
nnamwandu
Kawabutwa
75, bamulagidde
okulaga
obugagga
bwa bba
okuli ssente
enkalu, kkaadi
y'emmotoka
n'ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo