TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ensonga lwaki omusama Wajjala tagenda kukola kabaga mwaka guno.

Ensonga lwaki omusama Wajjala tagenda kukola kabaga mwaka guno.

Added 7th November 2019

Omusama Joseph Wajjala owa 'One million dollar party' ayogedde ensonga lwaki tagenda kukola kabaga mwaka guno.

 Wajjala n'ebyana ku kabaga k'omwaka oguwedde

Wajjala n'ebyana ku kabaga k'omwaka oguwedde

Gwe eyeesunga obubaga bw'abasama abanateera okuyingirawo okujooga mu gandaalo lya Ssekukkulu,

Mu ppate z'obala okulya eya Joseph Wajjala owa ‘One million dollar party' giggyemu.

Okusinzira ku maneja we Bbosa Gonzaga agamba mukama we mu kiseera kino ali e Denmark gy'akolera omwaka guno tagenda kusobola kujja mu ggwanga mu December nga bwabadde ateera okukola  okujja okucakaza bannakampala olw'obuvunanyizibwa n'emirimu emingi egimulindiridde mu kiseera ekyo.

 bosa ku ddyo nga ayogera Bbosa ku ddyo ng'ayogera.

Bbosa ategezezza bannamawulire olunaku lwa leero mu lukung'aana lwatuzizza ku Pearl of Africa hotel nti mukama we (Wajjala) ku hotel wakolera balina enteekateeka ey'enjawulo ekoleddwa okulaba nga basigalayo mu biseera bya Ssekukkulu olwa  bakasitoma abangi abamaze okupangisa woteeri eno.

Wabula agumiza abawagizi be nti omwaka ogujja (2020) bagenda kuddamu okutegeka ppate era okuvaayo bwebati bakikoze okulaba nga tebafaanana n'abasama abamu abajja mu ggwanga ne bajooga ate mu banga tono ne babula obutaddamu kulabika.

Akabaga Wajjala ke yategeka mu club Guvnor omwaka oguwedde ke kasinga okujjumbirwa n'okucamula abadigize ekitegezza nti ono guno omwaka bagenda kumusubwa nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...