TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno omulenzi asabye okuwasa Omumbejja Victoria Nkinzi

Wuuno omulenzi asabye okuwasa Omumbejja Victoria Nkinzi

Added 8th November 2019

OMUVUBUKA amaze ebbanga ng’aperereza muwala wa Kabaka wa Buganda, Omumbejja Victoria Nkinzi kyaddaki amuwangudde omutima bw’amunaanise empeeta nkusibiddaawo.

 Omumbejja Nkinzi ne Onyango nga basanyufu. Ku ddyo, ng'ali mu biseera bye ebyeddembe

Omumbejja Nkinzi ne Onyango nga basanyufu. Ku ddyo, ng'ali mu biseera bye ebyeddembe

Gareth Onyango owa kkampuni ya Flames Marketing & Advertising omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu era kitunzi akolagana n'amabaala ag'enjawulo mu Kampala okugatumbula, ‘yawangudde omutima gw'Omumbejja bw'amusabye akkirize okumuwasa.

N'Omumbejja yazzeemu nti nzikiriza olwo kwe kumunaanika empeta. Bino byabadde ku kabaga k'amazaalibwa g'Omumbejja ababiri bano ge baakulizza mu Thailand.

Ebifaananyi ebyakubiddwa n'akatambi akakwatiddwa nga Onyango afukamidde asaba Omumbejja obufumbo n'oluvannyuma ng'alaga olugalo kwe yatadde empeta ebyasaasaanye ku mikutu gya ‘social media' byacamudde abantu bakira ababiraba nga babayozaayoza okutuuka ku kino.

Omumbejja Nkinzi ne Onyango okumala ebbanga bazze balabibwa nga bali bombi ku bubaga obw'enjawulo ne mu bifo ebisanyukirwamu wano mu ggwanga n'ebweru.

Olw'essanyu lye yafunye n'okukakasa nti ddala ali mu kintu ng'enjogera y'ennaku zino, Onyango yakyusizza n'ekifaananyi ky'abadde akozesa ku nnamba ye eya WhatsApp (Profi le picture) n'awanikayo eky'ababiri (ng'ali n'omumbejja) buli muntu kati kw'atuusizza amaaso.

MMENGO EYOGEDDE

Omwogezi w'Obwakabaka era Minisita w'amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yategeezezza nti ensonga eno nkulu ddala era Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y'alina okufulumya obubaka obutongole obugikwatako eri Obuganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...

Maama ne muwala we.

Ettaka litabudde omwana ne ...

MAAMA ne muwala we batabuse lwa mmaali ya busika buli omu gy'akaayanira. Omwana yatuuse n'okuloopa nnyaabwe nga...

Omuyimbi Bebe Cool

Bebe Cool anenyezza bannadd...

Omuyimbi Bebe Cool omuwagizi wa NRM avuddeyo acoomera bannaddiini, "Mukomye okunenya poliisi olw'okukuba ttiyaggaasi....

Bebe Cool ng'annyonnyola.

Bebe Cool avuddeyo n'alumba...

Bebe Cool yeemulugunya ku kakiiko k'ebyokulonda olw'okubagaana okukuba enkugaana ezirimu abantu abangi era ye (Bebe...