TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasse mukama we n'akuuliita n'obukadde mukaaga naye bamusse

Eyasse mukama we n'akuuliita n'obukadde mukaaga naye bamusse

Added 8th November 2019

Kawungeezi yasoose ku ssundiro ly’amafuta ng’ali ne Bujingo era Bwe yasiseeyo bbando ya ssente omukozi we n’aziraba olwatuuse mu nnimiro yabadde ayiwa eddagala mu kiswa n’amutemaatema.

 Bannamwandu ba Kawungeezi (mu katono wakati) ne bamulekwa.

Bannamwandu ba Kawungeezi (mu katono wakati) ne bamulekwa.

OMUKOZI abazizza mukama we nga yaakatunda kasooli n'amutemaatema amajambiya n'amutta n'akuliita n'ensimbi obukadde mukaaga.

Robert Kawungeezi 38, omutuuze w'e Kisoga Namuyovu mu ggombolola y'e Kyegonza mu Gomba abadde omusuubuzi w'ebirimu yattiddwa mu bukambwe omukozi we eyategeerekeseeko erya Bujingo bwe yamubazizza ng'akutamye n'amutema ejjambiya ku nsingo n'agwa olwo n'amutemaatema n'aleka ng'afudde n'akuliita n'ensimbi ezitamanyiddwa muwendo.

Kawungeezi yasoose ku ssundiro ly'amafuta ng'ali ne Bujingo era bwe yasiseeyo bbando ya ssente omukozi we n'aziraba olwatuuse mu nnimiro yabadde ayiwa eddagala mu kiswa n'amutemaatema.

Omukazi eyabadde okumpi n'ennimiro ya Kawungeezi yalabye Bujingo ng'adduka n'akuba enduulu abatuuze ne bamutaayiza ne bamukwatira ku kyalo kye Kabanda ng'adduka ne bamutemaatema ne bamutta kyokka nga ssente yazikwese dda mu nsiko.

Ssentebe w'ekyalo, Charles Majimbi yategeezezza nti omutemu (Bujingo) yamumanyira ku mukama we Kawungeezi ng'amulaba atambula naye kyokka nga teyeewandiisanga ku LC era babadde tebamanyi gye yava n'asaba abantu abaleeta abakozi okubanjula eri abakulembeze.

Poliisi y'e Kanoni yatuuse mu kifo awagudde enjega eno kyokka yasanze abatuuze batabuse nga bagezaako okuteekera omulambo gw'omutemu omuliro n'egubaggyako n'egutwala mu ggwanika ly'eddwaaliro e Gombe n'ogwabadde mukama we Kawungeezi.

Omugenzi Kawungeezi abadde n'amaka abiri e Nsambwe n'e Kisoga mu Gomba era alese abakazi babiri okuli Mary Nakimbugwe gw'abadde alinamu abaana bana (4) ne Rebecca Ahereza gwabadde yaakazaalamu omwana omu akyayonka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...

Wetaka

Munna FDC ayagala poliisi e...

MUNNA FDC avuganya ku kifo ky'omubaka wa palamenti owa Bubulo East, Chris Matembu Wetaka alaajanidde poliisi okumuddiza...