TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Zanie Brown ne Hilderman basibiridde abaatudde P7 entanda

Zanie Brown ne Hilderman basibiridde abaatudde P7 entanda

Added 8th November 2019

Zanie Brown yaayitidde mu luyimba lwe olwa “Katonda ow’amaanyi” lwe yasoose okuyimba, okukubiriza abayizi okukulembeza Katonda mu buli ky ebakola. Ate Hilderman yabagambye nt baleme kujaguza bujazuza bajjukire ekiddako oluvannyuma lwa PLE.

 Abayimbi Dr. Hilderman ne Zanie Brown nga bali n'abayizi abaatudde P7.

Abayimbi Dr. Hilderman ne Zanie Brown nga bali n'abayizi abaatudde P7.

ABAYIMBI Zanie Namugenyi amanyiddwa nga  Zanie Brown ne Hillary Kiyaga amanyiddwa nga Dr. Hilderman bakuutidde abayizi abaatudde eky'omusanvu okufaayo okuvumbula ebitone byabwe oluwummula baleme kulumala mu kwenjeera.

Baabadde ku ssomero lya Victoria Mutundwe P/S,  gye baasisinkanidde abayizi abaatudde P7 okuva mu masomero ag'enjawulo okwabadde; Golden Junior School Kawaala, Makindye Junior School ne Victoria Mutundwe P/S okubasibirira entanda gye baba batambula nayo mu luwummula.

Zanie Brown yaayitidde mu luyimba lwe olwa "Katonda ow'amaanyi"  lwe yasoose okuyimba, okukubiriza abayizi okukulembeza Katonda mu buli kye bakola asobole okubatuusa ku Birungi bye bayaayaanira.

Yabanyumirizza nti yali atya nnyo essomo ly'Okubala ng'amanyi nti zzibu era ng'alikola bubi, naye bwe yakyusa endowooza eyo ne yeggyamu okutya, yamukola bulungi mu siniya  era n'amuyita.

Bwatyo abasabye obutakulembeza kutya mu biruubirirwa byabwe babikole n'obumalirivu bajja kubituukako. Abakuutidde okwekuuma mu luwummula n'okubeera n'empisa.

Yeeyamye okwongera okubalambulako yonna gye banaaba ng'ayita mu pulojekiti ye eya Zanie Brown for Schools okwongera okubayigiriza eky'okukola.

Dr. Hilderman yabawadde eky'okulabirako kye nti, wadde mulungi mu kutabula emiziki, naye ate Dokita omutendeke ajjanjaba abantu, nti kale ekitone tekibayinula ne balena okusoma.

Yabagambye nti, baleme kujaguza bujazuza bajjukire ekiddako oluvannyuma lwa PLE, kubanga  ensi gye balimu kati kukolagana,  bakuume emikwano kuba gisobola okubayamba okutuuka ku biruubirirwa byabwe mu bulamu.

Abasabye okusigala mu masomero baleme kwetaba mu ebyo ebibabuzaabuza okubaggya ku mulamwa gw'okusoma.

Ye Patrick Mukasa nnanyini ssomero lya Victoria Mutundwe PS asibiridde abayizi entanda nti, obulamu muzannyo baguzannye bulungi, singa baguzannya obubi balemwa, buli kintu bakikole n'amaanyi gaabwe gonna n'omukwano babeere abawanguzi.

Oluvannyuma Zannie Brown ne Dr. Hilderman bayimbiddemu abayizi  ennyimba zaabwe ezibanyumira  nabo ne babalaga kye balinawo mu mazina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu