TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Munnamawulire James Kunobwa afudde agasizza eggwanga

Munnamawulire James Kunobwa afudde agasizza eggwanga

Added 8th November 2019

Bannayuganda mu Amerika basiimye omugenzi James Kunobwa eyali Sipiika wa Disitulikiti y’e Mukono

 Omutume Dr. David Kunobwa ng'ayogera mu kusaba

Omutume Dr. David Kunobwa ng'ayogera mu kusaba

Ab'oluganda, emikwano ne Bannayuganda abalala mu Amerika basiimye emirimu omugenzi James Kunobwa gy'akoledde Disitulikiti y'e Mukono n'eggwanga lyonna okutwaliza awamu ne bagamba nti agasizza eggwanga kwe kusaba n'abalala bamuyigireko.

Mu kusaba okwenjawulo okwabadde ku kkanisa ya Rivers Of Life Assembly International ekulemberwa Omutume Dr. David Kunobwa (mutabani w'omugenzi) ne mukyala we Pasita Ritabella Kunobwa okwetabiddwako Bannayuganda okuva mu massaza g'omu Amerika ag'enjawulo,

 mugenzi unobwa Omugenzi Kunobwa

Beebaza Katonda olw'emirimu emirungi gy'amukozesezza era wano  Omutume Dr. David Kunobwa yagambye taata we ng'ogyeko okuwereeza eggwanga mu by'obufuzi, ayambye abantu okwekulaakulaanya era yakola omulimu gwa maanyi mu kuzimba kkanisa ez'enjawulo mu kitundu kye ng'ayita mu kubasakira obuyambi.

Kunobwa eyaliko omusomi w'amawulire ku Radio Uganda ne UTV mu myaka gya 1970 azikiddwa leero, yafa ku Ssande oluvannyuma lwa puleesa okumukuba n'asannyalala okumala wiiki ssatu

 mutume r avid unobwa ne mukyala we Omutume Dr. David Kunobwa ne mukyala we

Lumu bwe yali ayogerako ne Bukedde yategeeza nti, y'omu ku bakaawonawo abaasimattuka okuttibwa eyaliko Pulezidenti Amin bwe baamulumba mu sityudiyo okumutta nga bamulanga okusoma amawulire g'okufa kw'eyali Ssaabalabirizi wa Uganda, Janan Luwum era bwatyo yeekweka mu emu ku mmeeza  n'asimattuka kyokka ttivvi ne leediyo ne biggyibwako. 

Kunobwa eyali Sipiika wa Disitulikiti y'e Mukono yamala ebisanja bibiri okuva mu 2006 okutuuka 2016 ng'akiikirira ggombolola y'e Nagojje ku lukiiko lwa Disitulikiti y'e Mukono era n'aweebwa n'obukubiriza bwa Disitulikiti bwe yamalako ebisanja bibiri. 

 bamu kubeetabye mu kusaba Abamu kubeetabye mu kusaba.

Ajja kujjukirwa okusakira abalonzi be bwe yakulemberamu okuperereza Gavumenti okuzimba ettendekero lya Namataba Techinical Institute kati eryafuuka Limkwong University, era nga likyusizza embeera y'ekitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...