TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatemu bannyonnyodde Poliisi ebiwuniikiriza, baakatta aba boda boda 13 ne babanywamu omusaayi

Abatemu bannyonnyodde Poliisi ebiwuniikiriza, baakatta aba boda boda 13 ne babanywamu omusaayi

Added 9th November 2019

Abatemu bannyonnyodde Poliisi ebiwuniikiriza, baakatta aba boda boda 13 ne babanywamu omusaayi

 inister Karoro (mu kitengi) ng’awuliriza abakwate bwe beewaako obujulizi. Baabadde ku poliisi ye’ Kazo.

inister Karoro (mu kitengi) ng’awuliriza abakwate bwe beewaako obujulizi. Baabadde ku poliisi ye’ Kazo.

EKIBINJA ky'ababbi kiwuniikirizza abeebyokwerinda mu bitundu bya Kiruhura mu Ankole bwe bategeezezza nti baakatta abavuzi ba boodabooda 13 nga bwe banywa omusaayi gwabwe.

Bano okwogera bino, baabadde ku poliisi mu disitulikiti y'e Kazo eyakutuddwa ku Kiruhura eyabakutte mu kikwekweto ky'okufuuza abamenyi b'amateeka mu kitundu. Abaakwatiddwa bammemba b'akabinja ka ‘Twilight' akabadde katigomya aba boodabooda mu bitundu kuli, Ssembabule, Kiruhura, Kazo, Mirama Hills n'ebitundu bya Ankole ebirala.

Ku Lwokuna, poliisi yalaze bannamawulire ne minisita Mary Karoro Okurut abasajja bataano abaakwatiddwa ku by'okutemula aba boodabooda. Bano kuliko, Clesensio Kiiza 20, Godius Ahebwa 19, John Tumuhairwe 29, Sam Ssemanda 57, (omusamize w'e Ssembabule ku kyalo Keizoba) ne Enos Kabagambe 20 ow'oku kyalo Kakinga mu ggombolola y'e Burunga.

Ahebwa yagambye nti, yeegatta ku kibinja kino mu 2016 era yaakatta ababoodabooda munaana ng'akozesa muguwa. Ono yannyonnyodde nti, Kiiza ye yamuyingiza mu kibinja kino era mukama waabwe yadduse.

Yannyonnyodde nti bwe yayingira akabinja, Kiiza yamugamba nti waliwo omusamize e Ssembabule asobola okubawa eddagala ne batakwatibwa era n'amutwala ewa Ssemanda e Ssembabule n'abawa eddagala ne balinywa n'abakalaatira nti, omuntu yenna gwe basooka okutta balina okunywa omusaayi gwe era bwe banaakikola, bajja kuba bamaze okweteerawo obukuumi obutakwatibwa.

"Omuntu eyasooka gwe nasooka namuttira mu kibira e Ssembabule era omusaayi gwe ne ngunywa." Ahebwa bwe yagambye.

Yagaseeko nti, owa bbooda gwe yaddako okutta, yamuttira ku lutindo lw'e Rushere ate eyaddako n'amuttira ku kyalo Kabagore ate omulala yamuttira mu kibira ky'e Kazo eyaddako, yagambye nti, baamutta omulambo ne bagusuula mu mugga gw'e Rwenkoma ate omulala baamuttira Nshwerenkye n'eyasembayo baamuttira ku kyalo Kirundi e Ssembabule era nga byonna babikola ne mukama waabwe Akandwanaho ow'oku kyalo Kyera e Ssembabule. Ono buli ppikippiki gye babadde bamutwalira ng'abasasula wakati wa 200,000/- ne 300,000/-

. N'abalala okwabadde Kiiza bannyonnyodde nti, okutemula kw'aba bboodabbooda babadde bakufunamu akasente okuva ewa Akandwanaho era y'abadde abafunira n'aba bboodabbooda be balina okutta.

Wabula Ssemanda ye eby'okukolagana n'akabinja k'abatemu bano yabyegaanyi wadde nga bo baabadde bamulumiriza. Omwogezi wa poliisi mu bintundu by'e Rwiizi, Richard Ecega yagambye nti, bagenda kukozesa obujulizi abatemu bwe beewaddeko okubatwala mu kkooti.

Abantu be batta kuliko; Mathias Kentore eyattibwa mu October omwaka guno, omulala eyategerekekako erya Nuwagira okuva mu Mirama, Coleb ow'e Bwesibirabo n'abalala okuva mu Kazo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...