TOP

'Aba DP baagala AIGP Bangirana ave mu ofiisi

Added 11th November 2019

ABAVUBUKA b’ekibiina kya DP aba UYD balemedde ku akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okugula ebikozesebwa mu poliisi AIGP Godfrey Bangirana nga baagala asooke ave mu ofiisi kubanga kontulakiti ye yaggwaako.

 AIGP Bangirana

AIGP Bangirana

Isaac Maddo eyatekaayo omusango guno ng'ayita mu looya we, David Mushabe asabye omulamuzi Henrietta Wolayo okuyisa ekiragiro ekiyimiriza Bangirana okutuusa omusango guno lwe gunaggwa.

Bangirana teyazze mu kkooti wabula Josephine Kiyingi eyakiikiridde Ssaabawolereza wa gavumenti yawakanyizza okusaba kwa Maddo n'agamba nti waliyo ebbaluwa okuva ewa Mutambi eragira Bangirana okusigala mu ofiisi.

Wabula ate omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ensonga ezoomunda mu Dr. Benon Mutambi yategeezezza nti yamuwandiikira ebbaluwa emulagira okusigala mu ofiisi eno wadde nga kontulakiti ye yali eweddeko.

Julius Kirya looya wa Maddo yategeezezza nti ekitongole kya poliisi kye kirina okugaba emirimu mu poliisi so si Mutambi, noolwekyo ofiisi eyo agirimu mu bukyamu nga n'omusaala afuna ekibi eri abawi b'omusolo.

Yayongeddeko nti waliwo okunoonyereza kw'omubalirizi wa gavumenti okukwata ku Bangirana okumukugira okubeera mu kifo ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...