TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Essomero terinnyamba kimala mu kujjanjaba omwana'

'Essomero terinnyamba kimala mu kujjanjaba omwana'

Added 11th November 2019

OMUZADDE alumbye abakulira essomero lya Aliance Junior School e Matugga oluvannyuma lw’ekyuma abayizi kwe bazannyira okukuba muwala we ne kimumenya ekisambi kyokka ab’essomero ne batafaayo kujjanjaba mwana we.

 Nalunkuuma ng’asitudde muwala we Nantaba eyamenyeka.

Nalunkuuma ng’asitudde muwala we Nantaba eyamenyeka.

Sharon Nalunkuuma 23, omutuuze ku kyalo Kiti ekisangibwa e Matugga mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso yeemulugunyizza olwa muwala we Sophia Nantaba 4, okukubibwa ekyuma ne kimumenya okugulu. Eggumba lyamenyekera mu kisambi.

Nalunkuuma yategeezezza nti kati omwana we amaze wiiki ssatu nga okuva lwe yamenyeka naye ekisinga okumulumya omutwe ye Nantaba okufuna obuzibu abessomero ne batafaayo kumukubira wadde essimu nga muwala we bwe yali afunye obuzibu oba kulaga okufaayo kwonna.

Yategeezezza nti yagenda mu ddwaaliro e Mulago ne bamuwa ekitanda oluvannyuma ly'okukitegeera nti eggumba ly'omu kisambi lyamenyeka wabula nga n'abessomero tebaamubuulira kituufu kyatuuka ku muwala we.

Yagasseeko nti ekiseera mwe babeeredde mu ddwaaliro e Mulago abessomero baakoma ku kumuweereza ssente 80,000/-, wabula bwe yaddayo ku ssomero bamuwe obuyambi obulala alikulira, Fred Kabuye yamugoba bugobi.

Era yeekokkodde poliisi y'e Matugga obutamuyamba. Bwe yagendayo poliisi yagaana okumuwuliriza ne bamusindika ku ssomero kyokka ne bamugoba nga tebamuwadde buyambi bwonna.

Wano w'asabidde be kikwatako okumuyamba wamu n'abazirakisa okumudduukirira kuba muwala we ali ku ndiri mu bulumi obw'amaanyi.

Nnyina yatunda ebintu bye eby'omu nnyumba wamu ne by'akozesa okusiika cipusi okulaba nga muwala we adda engulu naye kati essuubi ligenda limuggwa.

Bwe twatuukiridde akulira essomero lino, Fred Kabuye yawakanyizza ebigambo bya Nalunkuuma n'agamba nti ng'essomero bakoze ekisoboka okujjanjaba omwana era Nalunkuuma babadde bamuwa ssente nga mu kiseera we yabeerera e Mulago baamuwa 200,000/- okutaasa obulamu bwa Nantaba kyokka bwe yavaayo n'abatwala ku poliisi era bwe yatuukayo poliisi y'e Matugga n'emusaba bakkaanye okulaba nga bajjanjaba omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...