TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnabbi Mbonye asattira: Poliisi emuyise yeeyanjule leero ku musango gw'okulwanyisa kaweefube wa Gav't ow'okugemesa abaana

Nnabbi Mbonye asattira: Poliisi emuyise yeeyanjule leero ku musango gw'okulwanyisa kaweefube wa Gav't ow'okugemesa abaana

Added 11th November 2019

OMUSUMBA Elvis Mbonye asattira olwa Poliisi okumuwa nsalessale wa leero okweyanjula ku bigambibwa nti yaggulawo kampeyini ey’okulwanyisa kaweefube wa gavumenti ew’okugemesa abaana okw’ekikungo.

Poliisi yamulagidde nti ssinga teyeeyanjula leero ku Mmande, waakukwatibwa.

Yali ateekwa kweyanjula nga October 2, kyokka teyalabikako ku kitebe kya bambega e Kibuli ku bigambibwa nti yakozesa omukutu gwe ogwa Facebook okuvumirira enkola ya gavumenti ey'okugema endwadde okuli Polio, olukusense ne Rubella.

Omumyuka w'akulira okunoonyereza ku misango ku e Kibuli naddala ku bakozesa obubi omukutu gwa FacebookJoseph Obwona, yamulagira agende ababuulire ebigendererwa by'ekiwandiiko ky'agambibwa okussa ku mukutu gwe egwa Facebook nga October 9 ne 10, 2019.

Omusumba Mbonye y'akulira ekkanisa y'Abalokole eyitibwa Zoe Fellowship Ministries [ ZFM] esangibwa e Lugogo. Etteeka erikwata ku kugemesa abaana okwekikungo eryayisibwa mu mwaka 2017 lirambika nti tewali akkirizibwa kutaataaganya nteekateeka za gavumenti ez'okugema.

Yategeezezza nti gavumenti eyinza okuba ng'erina enteekateeka endala ku bannaddiini kubanga ereeta tteeka okulaba nga ebakwatako ye ky'alaba nti kiyinza okubakosa era asaba poliisi eyambe ekole okunonyereza okutuufu.

Leero ku Mmande asuubirwa okweyanjula era asuubirwa kuwerekerwako abamu ku bagoberezi be.

Ku lunaku lwe yali agenda okweyanjula yasindika abamu ku bagoberezi kyokka poliisi n'ebagaana nga eyagala ye yennyini era n'ebawa ebiragiro nti ssinga teyeeyanjula mu bwangu bagenda kumukwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutuulakungo alaze bwe yate...

OMUSAMIZE Mutuulakungo eyatendeka Augustine Yiga Abizzaayo okutetenkanya ekibuga alaze engeri gye yamubangulamu...

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...