TOP

Museveni awagidde okwongeza ffiizi e Makerere

Added 11th November 2019

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abakulira yunivasite y’e Makerere ne bakkaanya nti ffiizi za yunivasite n’ebintu birala ebirina okussibwa mu nkola okusitula omutindo gwa Makerere.

Pulezidenti Museveni (wakati), Janet (owookubiri ku kkono), Nawangwe (ku ddyo) n'abakungu abalala.

Abaddukanya Makerere baakulembeddwa ssentebe w'akakiiko ka yunivasite, Lorna Magra n'omumyuka wa cansala, Polof. Barnabas Nawangwe n'abalala ne basisinkana Museveni mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero okwogera ku ffiizi za yunivasite ezaayongezeddwa ebitundu 15 ku 100 ne kivaako abayizi okwekalakaasa.

Mu nsisinkano eno era kyasaliddwaawo nti amasomo agamu agasomesebwa ku yunivasite eno gaakuggyibwawo, Makerere esobole okuvuganya obulungi ne yunivasite endala eziri mu buvanjuba bwa Africa.

Abakulu era baakinogaanyizza nti Makerere yeesinga okusasuza ssente entono bw'ogeraageranya ku yunivasite endala mu East Africa era baasazeewo nti ssente eziva mu bayizi zaakukola mirimu gya yunivasite naddala okuzimba n'okuddaabiriza ebizimbe.

Museveni era yategeezezza nti ensonga zino waakuzanjulira bannakibiina ba NRM mu lukiiko lwabwe lwe basuubira okutuuza olwaleero (Mmande) bongere okuzitunulamu n'okulaba nga tewaddamu kubaawo bwegugungo e Makerere.

Ensisinkano yeetabiddwaamu ne minisita w'ebyenjigiriza era mukyala w'omukulembee w'eggwanga Janet Kataha Museveni.

Museveni yakunyizza abaddukanya Makerere ku ngeri amagye gye gaayingizibwa mu nsonga z'abayizi ne bamunnyonnyola nti amagye gaali gaakubayo dda enkambi nga kigambibwa nti kyakolebwa kuyamba mu kukakkanya obumenyi bw'amateeka mu Kawempe.

GEN. SALEH ASISINKANYE ABAKULIRA ABAYIZI

Julius Kateregga akulira abayizi yakulembedde banne nga baayitiddwa Gen. Saleh okwekenneenya ensonga ezivaako emirimu okusanyalala okumala ennaku eziwera naddala eyokwongeza ffiizi, n'okulaba engeri gye bayinza okumalawo obuzibu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...