TOP

Beeyiye mu kimeeza kya Bukedde ku by'ettaka

Added 11th November 2019

ABANTU ab’enjawulo bakedde kweyiwa ku kitebe kya Bukedde okwanja ebizibu n’okusaba okuyambibwa ku ngeri gye basobola okuvvuunuka ebizibu ebiri ku ttaka lyabwe.

 Abamu ku bantu abaasoose okwewandiisa okwetaba mu Kimeeza kino.

Abamu ku bantu abaasoose okwewandiisa okwetaba mu Kimeeza kino.

Ku ssaawa 1:00 ey'okumakya abantu baabadde baatandise dda okusimba ennyiriri okuyingira mu musomo.

Enyiriri zaasimbiddwa okuva ku mulyango omunene oguyingira ku kitebe kya kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde esangibwa ku Plot 19/21 Third street mu Industrial Area.

Abakungu okuva mu Minisitule y'ettaka, aba Buganda Land Board, abakungu mu poliisi abaakulembeddwa Charles Mutungi aduumira ekibinja kya poliisi ekikola ku by'ettaka ne Emillian Kayima; kw'ossa ab'ekitongole ekiramuzi, bannamateeka n'abakungu abalala abakola ku nsonga z'ettaka.

Pulogulaamu yatandise ku ssaawa 4:00 ez'oku makya ng'eweerezebwa butereevu ku Bukedde FM Embuutikizi ate ku ssaawa 7:00 ez'emisana n'egenda butereevu ku mpewo za Bukedde TV 1.

Abantu abenjawulo okuva mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu baabadde n'ebizibu by'okugobwa ku ttaka nga kuno kuliko Aloysius Kakande eyavudde e Ggomba, Sulaiman Mugisha okuva e Kisugu, ekkanisa gweyagoba, Kevin Nantongo yagobwa Mulago, Rose Kawuki Namuddu eyavudde e Nakawuka n'abalala bangi.

Vision Group efulumya ne Bukedde be baategese Ekimeeza kino nga bayita mu nteekateeka ewagirwa ekitongole kya nnakyewa ekirwanirira eddembe ly'obuntu ekya Democratic Governance Facility (DGF) okuyambako abantu okwanguyirwa okufuna obwenkanya.

Abantu bangi baaweereddwa omwagaanya okwanja ensonga z'ettaka n'ebibanja ezibabobbya omutwe nga bazitegeeza abakugu n'abakwatibwako okuva mu bitongole bya gavumenti eby'enjawulo; omuntu wa bulijjo asobole okuyambibwa.

Enteekateeka eno eddiridde okuyaayaana abantu kwe bazze balaga nga baagala okuweebwa omwagaanya okwogera ku nsonga z'ettaka n'ebibanja n'ekiruubirirwa eky'abakulembeze wamu n'abakungu mu minisitule ezikwatibwako ebyettaka n'ebyamateeka okuyingira mu nsonga bayambeko okuzigonjoola.

Akulira enteekateeka eno Richard Kayiira yagambye nti Bukedde azze atalaaga ebitundu eby'enjawulo okuli Mubende ne Lugazi, naye ng'ekizibu ky'ettaka kivaayo nnyo mu buli lukung'aana lwe bakuba okwogera ku nsonga eziruma abantu mu kitundu ekyo.

Ku kino kwe baasinzidde okusalawo okutegeka Ekimeeza nga kiri ku nsonga za ttaka zokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...