TOP

Omukozi asaze omwana wa nkubakyeyo ennyindo

Added 11th November 2019

POLIISI e Mubende ekutte omukazi Rose Kansiime ow’e Kiseekende alabirira abaana abato ku ssomero lya Golden Dove ng’emulanga kukkakkana ku mwana Hakim Mutyaba 4, gwe baamulekera okulabirira n’amusalako akalindaminyira ng’akozesa akambe.

 Akugizibwe (ku kkono) ne mutabani we Mutyaba (mu katono) gwe baasaze. Kansiime gwe balumiriza

Akugizibwe (ku kkono) ne mutabani we Mutyaba (mu katono) gwe baasaze. Kansiime gwe balumiriza

Maama w'omwana ono, Sanny Akugizibwe abadde yagenda Buwalabu mu ggwanga lya Oman okunoonya ssente.

Yagambye nti, yali ayagala omwana we amulekere bakadde be kyokka Kansiime eyali mukwano gwe n'amugamba nti amumuwe ajja kusobola okumulabirira era ne bakkiriziganya amuweerezenga emitwalo 30 buli mwezi n'omutwalo gumu n'ekitundu buli wiiki era abaddenga azimuwa bulungi.

Kimubuuseeko bw'akomyewo n'asanga nga mutabani we talina kalindaminyira ate ng'alina n'enkovu nnyingi ku mubiri gwe.

Yagambye nti, bwe yamubuuza kye yaba mutabani we n'amutegeeza nti Kansiime yamukuba n'amusala ennyindo ng'amulanga kweyambira mu nju.

"Bwe namubuuza lwaki yali yeeyambira mu nju n'antegeeza nti yalekanga amusibidde mu nnyumba nga ne bw'aba ayagala okugenda mu kaabuyonjo talina waayita okutuusa ng'akomyewo okuva ku mulimu.

Kino kyatabudde Akugizibwe bwatyo n'addukira ku poliisi n'awaaba era kati Kansiime atemeza mabega wa mitayimbwa ku poliisi enkulu ey'e Mubende.

Jjajja w'omwana, Wilson Byaboona yagambye nti, muzzukulu we yamutegeezezza nti, akalindaminyira baakafumba ne bakamuliisa ekintu kye yayise eky'ettima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...