TOP

Poliisi ewadde abatambuza enseenene ebiragiro

Added 11th November 2019

Yagambye nti kino tekigenda kuziyiza bubenje bwokka wabula kijja kuyamba n’abazirya kubanga zijja kutuukanga mu katale nga tezoonoonese. Ssebambulidde yagambye nti okussa enseenene mu takisi omutuula abantu kyabulabe eri abazirya kubanga emmotoka zibeera ncaafu.

 Abantu nga bagula enseenene ezaabadde zitikkiddwa ku ttakisi.

Abantu nga bagula enseenene ezaabadde zitikkiddwa ku ttakisi.

POLIISI y'ebidduka eragidde abatambuza enseenene okufuna ebidduka ebituufu mwe balina okuzitambuliza.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka mu ggwanga, Charles Ssebambulidde yabalagidde okufuna kabangali oba loole bazookereko emitayimbwa kwe baba bassa ekkutiya z'ensenene.

Yagambye  nti kino tekigenda kuziyiza bubenje bwokka wabula kijja kuyamba n'abazirya kubanga zijja kutuukanga mu katale nga tezoonoonese. Ssebambulidde yagambye nti okussa enseenene mu takisi omutuula abantu kyabulabe eri abazirya kubanga emmotoka zibeera ncaafu.

Ate okuzitikka akabindo kiremesa baddereeva okulaba obulungi gye balaga ekiyinza okuvaako obubenje. Yagambye nti abataagondere mateeka bajja kukwatibwa bavunaanibwe.

Yasabye abali mu bizinensi eno okufaayo okugondera amateeka okwewala okufiirwa kubanga enseenene zoonooneka mangu ng'okukwata emmotoka kijja kwonoona bizinensi zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...