TOP

Laba amaziga g'essanyu.

Added 11th November 2019

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye olw’essanyu

 Faridah Ndausi nga akaaba

Faridah Ndausi nga akaaba

 

Mikwano gye Faridah nga bakulembeddwamu Jean Nakacwa, Leila Kalanzi Kachapizo n'abalala be bamukoledde akabaga kano akabadde ku Acacia mall e Kamwokya leero emisana.

Okujja ku Acacia bamulimbye nti yeetagibwa mu bwangu bamukube ebifaananyi eby'omulembe (photo shoot) bye bagenda okukozesa okulanga omuzannyo gwabwe omupya kyokka ono asoose kung'aana bwabagambye nti abadde teyeetegese era yeetaga obudde obumala okufuna n'engoye ez'omulembe n'abasaba bakikole olunaku lw'enkya.

 aridah ne mikwano gye nga basala keeki Faridah ne mikwano gye nga basala keeki.
 

Wabula bano balemeddeko ne bamutegezza nga buli kimu bwe kikoleddwako okuli n'engoye z'agenda okwambala ne bamusaba akozesa obwangubwonna bwasobola okubatuukako.

Faridah avuze mmotoka ye kyokka kimuweddeko bwatuuse we bamulagiridde okubasanga ng'alaba mikwano gye ne baludde okulaba batudde bamulindiridde ne keeki okuli amannya ge n'obubaka bw'amazaalibwa.

 aridah nga bamuwa ebyokulya nokunywa Faridah nga bamuwa eby'okulya n'okunywa.

nga yakatuula mu ntebe bamuzannyidde amaloboozi ga munywanyi we Rema Namakula atasobodde kujja (yeetegekera mukolo gwe 'okwanjula) nga amuyozaayoza okutuuka kulunaku luno ekimucamudde era akaabye olw'essanyu eringi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...