TOP
  • Home
  • Agawano
  • Eyeeyise owa ISO n'abba emmotoka bamukutte

Eyeeyise owa ISO n'abba emmotoka bamukutte

Added 12th November 2019

OMUSAJJA abadde yeeyita owa ISO n’abba mmotoka ku muntu akwatiddwa.

 Lumu n’emmotoka gye bamukutte nayo.

Lumu n’emmotoka gye bamukutte nayo.

Simon Lumu, yakwatiddwa oluvannyuma lw'okubba emmotoka ya buyonjo nnamba UBA 577N, okuva ku Fahad Mayiga, omusuubuzi w'e Kyengera mu Wakiso.

Poliisi egamba nti Lumu, baamulondodde okutuusa lwe baamuguddeko nga yeekukumye okumpi n'omwalo gw'e Katosi, mu disitulikiti y'e Mukono. Oluvannyuma yatwaliddwa ku Poliisi y'e Busega, Mayiga, we yaggula omusango gw'okumubbako mmotoka n'essente, ku fayiro nnamba SD:09/24/01/19.

Ensonda mu ISO, zaategeezezza nti Lumu yali omu ku baasooka okukwatibwa aba ISO, nga bamuteebereza okubaako ne ky'amanyi ku kutemulwa kw'eyali omwogezi w'ekitongole kya poliisi, AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Ono oluvannyuma yateebwa kyokka ng'amaze okufuna emikwano mu kitongole kya ISO, ekimuyambye ennyo okukola ebikolobero nga yeekweka mu kitongole kino.

Kigambibwa nti abadde aliko abaserikale b'akolagana nabo nga bamweyambisa okubawa amawulire ku bamenyi b'amateeka mu bitundu by'e Kyengera, Busega ne Nateete, ekyongedde okumuwa omukisa okusemberera aba ISO, n'atandika n'okweyita omu ku bo.

Mayiga, agamba nti waliwo omuntu eyamuyunga ku Lumu, ng'alina obuzibu n'amutegeeza nti mukozi wa ISO.

Agamba nti yamutuukirira kyokka n'amuggyako mmotoka ye mu lukujjukujju. Bwe yagimusaba ng'amujuliza nti bakamaabe balina emirimu gye baali bagikozesa.

Mayiga agamba nti yamukubiranga essimu nga tagikwata, ekyamuwaliriza ensonga okuzitwala ku poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...