TOP

Poliisi ekunyizza omusumba Mbonye

Added 12th November 2019

Mbonye yeeyanjudde ku kitebe kya bambega e Kibuli Ku Mmande nga yasooka kuyitibwa nga October 21, n’atagendayo era poliisi n’emuwa ekiragiro nti singa alemererwa okweyanjula bagenda kumunoonya yonna gy’ali. Abagoberezi be n’abakulu b’ekkanisa ye be bamu ku baamuwerekeddeko e Kibuli.

 Omusumba Mbonye

Omusumba Mbonye

BAMBEGA ba poliisi bakunyizza omusumba Elvis Mbonye ow'ekkanisa ya Zoe Fellowship Ministries (ZFM) e Lugogo ku bigambibwa nti yafulumya ekiwandiiko ekitaataaganya kampeyini ya gavumenti ey'okugema abaana.

Mbonye yeeyanjudde ku kitebe kya bambega e Kibuli Ku Mmande nga yasooka kuyitibwa nga October 21, n'atagendayo era poliisi n'emuwa ekiragiro nti singa alemererwa okweyanjula bagenda kumunoonya yonna gy'ali. Abagoberezi be n'abakulu b'ekkanisa ye be bamu ku baamuwerekeddeko e Kibuli.

Baamuvugidde mu mmotoka eza bbeeyi eziriko amannya ge nga yawerekeddwaako ne bboodabooda. Baamubuuzizza ky'amanyi ku kiwandiiko ekyafulumira ku mukutu gwe ogwa ‘Face Book' nga October 9 ne 10 n'akyegaana n'agamba nti tasimbirangako nteekateeka za Gavumenti ez'okugema abaana ekkuuli.

Yayingidde ne Pulezidenti wa DP, Nobert Mao eyabaddewo nga looya we ate nga mukwano gwe. Omwogezi w'ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango Charles Twine yategeezezza nti baamuyimbulidde ku kakalu ka poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...