TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekinnya ku ppaaka ya USAFI kitabudde abasaabaze ne baddereeva

Ekinnya ku ppaaka ya USAFI kitabudde abasaabaze ne baddereeva

Added 12th November 2019

Ekinnya kigambibwa nti kyavudde ku bigoma ebitambuza amazzi ebyassibwa mu kifo kino okubomoka. Okuva ekinnya kino lwe kyajja mu luguudo obubenje bweyongera mu kifo kino nga n’oluusi emmotoka ezibeera zikyewala zitomera abatambuze.

 Ekinnya mu luguudo wakati.

Ekinnya mu luguudo wakati.

EKINNYA ekiri wakati mu luguudo lwa Kaguje e Katwe n'akatale ka Usafi kitabudde abasuubuzi n'abavuzi b'ebidduka naddala abattakisi abatandise okukozesa ppaaka eno.

Ekinnya kigambibwa nti kyavudde ku bigoma ebitambuza amazzi ebyassibwa mu kifo kino okubomoka. Okuva ekinnya kino lwe kyajja mu luguudo obubenje bweyongera mu kifo kino nga n'oluusi emmotoka ezibeera zikyewala zitomera abatambuze.

Moses  Mugwerwa omu ku balina edduuka lya sikulaapu mu kitundu kino yagambye nti emmotoka  bwe zigwa mu kinnya kino ziwaba ne zibalumba we bakolera.Yagambye nti bagezezzzako okutuukirira be kikwatako okulaba ng'ekinnya kino bakiziba kyokka tewali kyali kikoleddwa.

Moses Mugerwa nga muvuzi wa ttakisi ku luguudo lw'e Ntebe mu ppaaka ya Usafi  yagambye ekitongole kya KCCA si kyenkanya olw'okuleka ekinnnya kino wakati mu luguudo ng'ate baabalagira okutandika okukozesa ppaaka eno kye bagamba nti kyabulabe ku bbo n'abasaabaze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...