TOP

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

Added 12th November 2019

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

ONO maama w'abaana tanywa guteeka. Akutte omuvubuka w'oku situliiti agambibwa okumubba n'amukuba empi n'okumuyiira caayi. Omukazi ono caayi amufumbira ku kibangirizi kya Ssemateeka ku Kampala Road.

Ggaayi ono eyategeerekeseeko erya Ivan yabadde ne banne nga banoonya gwe basumagiza, omukazi n'amulaba. Yamulinnye akagere n'amuvumbagira n'amukwata amataayi n'okumuyisaamu empi n'oluvannyuma n'amuyiira ekikopo kya caayi gwe yabadde atabulidde kasitooma.

Abantu baalabye omuvubuka atuuyana nga n'omukazi amulemeddeko kwe kumusaba amusonyiwe.

Yagaanyi ng'agamba asooka kuleeta bbinika ye. Yabadde amutwala ku poliisi y'oku CPS ne bamulabula nti naye bayinza okumukwatirayo okutwalira amateeka mu ngalo anti yayiiridde omuvubuka caayi omukalu.

Olwawulidde bino n'amuta era omuvubuka teyazzeemu kutunula mabega n'adduka. Banne baagambye nti ebbinika yagitunda 2,000/- mu sikkulaapu ssente n'aziryamu ekikomando

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rev. Namwanja

▶️ Rev. Namwanja abuulirira...

Rev. Amos Namwanja abuulirira abazadde ku ngeri y'okukuza abaana aboobuvunanyizibwa.

Omuntu w'Abantu; Ssanyu akuleetedde Moses Matovu owa Afrigo.

▶️ OMUNTU W"ABANTU; Tukulee...

Moses Matovu owa Afrigo Band akubuulira ekimuwangaza n'akubiriza n'abantu okukola ennyo basobole okuva mu bwavu....

Wakula ng' asembeza Abakrisitaayo mu kusaba.

Omulabirizi wa Central Buso...

OMULABIRIZI wa Central Busoga  akungubagidde abadde Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde...

Omugenzi Ssaabasumba Cyprian  Lwanga.

Mmanyi Lwanga okuva obuto -...

FAAZA Joseph Lugobe owa St. Agnes Kibuye-Makindye y'omu ku baludde ne Dr. Lwanga okuva obuto. Anyumirizza Margaret...

Omugenzi Ssaabasumba

Obubaka bwa Ssaabasumba bwe...

Dr. Lwanga yabadde ategese obubaka bw'okusoma ku Paasika e Lubaga. Bwasomeddwa Viika Genero wa Kampala, Msgr. Charles...