TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema atambula akaada: Abatimbi beetala nga nnamutale..!

Rema atambula akaada: Abatimbi beetala nga nnamutale..!

Added 12th November 2019

Ebimu ku binaakozesebwa mu kwanjula kwa Rema Namakula bitandise okutuuka awanaabeera omukolo.

 Rema (ku ddyo) alinze lunaku. Ku ddyo, ye ggeeti omunaayita abagenyi.

Rema (ku ddyo) alinze lunaku. Ku ddyo, ye ggeeti omunaayita abagenyi.

Abazimba obwaguuga bwa weema omunaabeera emikolo, eggulo baataddewo ebyuma ebinaatuulako ettundubaali wakati mu kwerinda okw'amaanyi.

Abaserikale ba poliisi bassiddwa mu kifo kino mu Bataka Zooni e Nabbingo ku lw'e Masaka.

Okwanjula kwa Rema kwa Lwakuna lwa wiiiki eno mu maka ga Francisco Ssemwanga.

Ono waaluganda lwa Rema. Abakulira enteekateeka z'okwanjula ku ludda lwa Rema, Issa Musoke, Musa Kavuma owa Golden Band ne maneja wa Rema, Ssaalongo Godfrey Kayemba baasimbye mu kifo kino okulabirira omulimu gw'okukiteekateeka.

Abakola ku weema bakira bakola nga n'abalina obuvunaanyizibwa obulala bayingizaawo ebintu.

Mu byasoose okutuusibwa ge mazzi agaabadde ku kabangali agagenda okugabulwa abagenyi.

Leero bamaliriza okussaawo weema, olwo enkya beemalire ku kutimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...