TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Afiiridde mu mulyango nga bamutwala mu ddwaaliro

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala mu ddwaaliro

Added 12th November 2019

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

 Densinte y'omugenzi Kilobi

Densinte y'omugenzi Kilobi

Abatuuze  basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako.

 

Kino kiddiridde  ku Lwokubiri abatuuze b'omu Kibe Zooni mu Muluka gwa  Makerere III e Kawempe okugwamu entiisa bwe baasanze munnaabwe ng'ali mu nju ali bubi. Baafunye boodabooda bamutwale mu ddwaaliro e Mulago wabula baabadde baakamufulumya  n'afiira mu mulyango .

Oluvannyuma baazudde densite  ye ng'eraga nti ye Patrick Kilobi enzaalwa y'e Mukono ku kyalo Wabununu mu muluka gw'e Buliika.

Kino kyawalirizza nnannyini mayumba David Musisi Luganga okuloopa ku poliisi y'oku Kaleerwe eyatutte omulambo mu ggwanika e Mulago .

usisi landiroodi ngalaga ndensite yomugenziMusisi landiroodi ng'alaga ndensite y'omugenzi

 

Musisi yategeezezza nti Kilobi abadde yaakamala emyezi ebiri ku nju ze, era ng'abadde muwuulu.

Yagasseeko nti  ku  Ssande omugenzi yamutegeezza nga bw'alinamu ekifuba ne ssenyiga wabula embeera teyabadde mbi, naye ku Lwokubiri yalabye tafuluma kwe kumukeberako n'amusanga ng'ali bubi.

Moses Kibuuka yategeezezza nti  bannannyini mayumba abasinga kasita abapangisa babawa ssente tebafaayo kubasaba bibakwatako. Yagasseeko nti abantu bangi bazze bafiira mu mayumba ne batwalibwa mu ggwanika oluvannyuma ne baziikibwa mu limbo nga tebamanyikiddwaako mayitire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...