TOP

Kadaga alabudde abakozesa obwana obuto

Added 12th November 2019

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana abato emirimu egy’obulabe eri obulamu bwabwe.

 Kadaga (kkono) ng’ayogera mu lukung’aana

Kadaga (kkono) ng’ayogera mu lukung’aana

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana abato emirimu egy'obulabe eri obulamu bwabwe.

Kadaga agamba nti obwavu, obutasoma , entalo n'obutabanguko mu maka y'ensibuko y'abaana okukozesebwa emirimu, olumu egibalemesa n'okusoma. N'agamba bino bivaako abaana olumu obutasoma ne badda mu kwenyigira mu by'obulimi, ffamire zaabwe zisobole okufuna ku ssente n'olumu okubasindika okukola obwahawusi ggaalo mu kifo ky'okusoma.

Yagambye nti abaana olumu be beenyigira mu kukola emirimu egy'okwenoonyeza ffiizi olw'obwavu bw'abazadde.

Bino yabyogeredde mu lukung'aana lw'aba Ssaabalamuzi  mu nsi yonna olwatudde  e Lucknow mu Buyindi.

Kadaga yagambye nti kyetaaga okwawula abakozesa abaana emirimu gy'okubasasula ensimbi ekintu ekikontana n'amateeka n'abo abakozesa emirimu gya waka.

N'agamba nti bino byonna birina okussibwa mu mateeka emirimu egitalina kukolebwa mwana gyawulwe bulungi.

Bassaabalamuzi basabiddwa okutegeeza gavumenti zaabwe okussaawo embeera eneekaka amasomero  okutandika okusomesa abayizi emisomo egikwata ku kukuuma emirembe n'abantu okuguminkiriziganya mu by'obuwangwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...

Poliisi ereese Ikara

GOOLOKIPPA Tom Ikara asaze bakyampiyoni Vipers SC ne URA FC ekikuubo bw'atadde omukono ku ndagaano ya myaka ebiri...

Hajji Farooq Ntege akubye a...

MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West’ bwa bawadde lukululana...

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...