TOP

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka

Added 12th November 2019

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana waabwe yafuna embeera eno oluvannyuma lw'okugemebwa.

 Faith Nyachwo maama wa Elijah Musasizi ng'amusitudde mu ddwaaliro e Kiruddu.

Faith Nyachwo maama wa Elijah Musasizi ng'amusitudde mu ddwaaliro e Kiruddu.

ABAZADDE b'omwana ow'emyaka esatu Elijah Musasizi batabuddwa olw'ekimbe ekitandise okuyubula omwana waabwe olususu. 

Wilson Musasizi kitaawe w'omwana ono omusawo mu ddwaaliro e Bombo agamba nti  mutabani waabwe  okutandika okuyubuka olususu kyatandika mwezi guwedde  nga baakamala okumugemesa olukusense.

Yagambye nti baasooka ne bamutwala e Naggalama  mu ddwaaliro gy'abadde ajjanjabibwa kyokka  embeera  ne yeeyongera okutabuka  olususu lwonna  ne lutandika okuva ku mubiri.

Agamba nti mu ddwaaliro  e Naggalama  abasawo baamwekebejja naye era ekivaako ekizibu kino tebaakifuna.

Olususu lw'omwana ono lwatandika nga lulinga lwe bayiiridde amazzi agookya kyokka kati embeera gy'alimu mbi kuba olususu lwonna lwayubuka. Abasawo kati basazeewo ebiwundu okubisibako bandegi okuziyiza obuwuka okumutuuka ku mubiri.

usasizi  nga bwafaanana mu mugongoMusasizi nga bw'afaanana mu mugongo.

Faith Nyachwo nga ye maama w'omwana nga naye musawo mu ddwaaliro lino, agamba nti, kyamuyitiriddeko kuba tamanyi kituufu kiruma mwana we. 

Abazadde bano  bagamba nti kirabika omubiri gw'omwana waabwe gwagaana okumanyiira eddagala eryamukubwa mu kubagema. 

Mary Awinjo, muganda wa Nyachwo yagambye nti  tewali amanyi kituufu ku kirwadde ekimuluma kubanga  baagemesa abaana basatu kyokka  omu ye yafunye obuzibu buno ng'abalala bonna embeera y'emibiri gyabwe  terina buzibu.

Dr Richard Idro mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw'okulaba omwana ono, yawakanyizza ebigambibwa nti omwana yandiba nga yakosebwa ddagala lye baabakuba nga babagema  n'ategeeza nti ebbanga  liyisewo ng'okugema kuwedde. 

Yagambye nti omwana yeetaaga kusooka  kwekebejjebwa  bakugu abakwataganya  ebyensusu  okuzuula ekituufu ekimuluma. Wano we yasabidde bazadde bw'omwana ono okubatwala e Kiruddu basobole okuzuula ekiruma omwana waabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...