TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balumirizza abakungu b'e Kyotera okubasuubiza emirimu ne babaggyako ssente

Balumirizza abakungu b'e Kyotera okubasuubiza emirimu ne babaggyako ssente

Added 13th November 2019

Bagamba nti ssente ezaabasabibwanga zaali wakati w’obukadde busatu ne 10, ne babakozesa yintaviiyu kyokka balinze okumala ebbanga ng’emirimu tebagifuna. Nabawanda alumiriza ng’omu ku banene ku disitulikiti bwe yamuwa ssente ze n’amusuubiza okumuwa omulimu kyokka akanze kulinda nga talina kyamunyega nga ne bw’amusaba obukadde bwe obusatu bwe yamuwa amubuzaabuza.

 Nabawanda ( k ddyo), Kalyango ne Sekitto nga bali k kitebe kya disitulikiti y'e Kyotera.

Nabawanda ( k ddyo), Kalyango ne Sekitto nga bali k kitebe kya disitulikiti y'e Kyotera.

ABANTU abagamba nti baggyibwako ssente nga babasuubiza okufuna emirimu ku disitulikiti y'e Kyotera balemeddeko nga baagala zibaddizibwe.

Nga bakulembeddwaamu Dorah Nabawanda, Brian Kalyango ne John Ssekitto bagamba nti baalanga emirimu mu mwezi gwa April era ne babaako ssente ze baasasula nga babasuubizza okugifuna kyokka ne batagibawa.

Bagamba nti ssente ezaabasabibwanga zaali wakati w'obukadde busatu ne 10, ne babakozesa yintaviiyu kyokka balinze okumala ebbanga ng'emirimu tebagifuna.

Nabawanda alumiriza ng'omu ku banene ku disitulikiti bwe yamuwa ssente ze n'amusuubiza okumuwa omulimu kyokka akanze kulinda nga talina kyamunyega nga ne bw'amusaba obukadde bwe obusatu bwe yamuwa amubuzaabuza.

Brian Kalyango naye agamba nti gwe yawa ssente amumanyi era naye alemeddwa okuzimuddiza.

Yalaze obubaka ku ssimu bwe yamusindikira nga bamusaba ssente n'engeri gye yazimuwaamu.

Wabula omuwandiisi w'akakiiko  akagaba emirimu, Aron Kayinga yagambye nti ebifo ebisinga tebinnaba kujjuzibwa oluvannyuma lw'abantu abasaba emirimu obutabeera na bisaanyizo.

Akulira abakozi ku disistulikiti, Fred Kalyesuubula yagambye nti abamu ku baasaba emirimu baalina empapula enjingirire era ensonga ne bazikwasa poliisi.

Yagambye nti abaalina ebiwandiiko ebituufu amannya gaabwe baagawereza mu kakiiko akagaba emirimu nga balindiridde okufuna okuddibwamu.

Kalyesuubula avumiridde ekikolwa eby'okuggyako abantu ssente okubawa emirimu n'agamba nti emirimu ku disitulikiti giba gya bwereere.

N'agamba nti abalina okwemulugunya basobola okumutuukirira n'alaba engeri gye basobola okuyambibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.