TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayagala KCCA ereete bbaasi ezikozesa amafuta agava mu kasasiro

Museveni ayagala KCCA ereete bbaasi ezikozesa amafuta agava mu kasasiro

Added 13th November 2019

Museveni yagambye nti Uganda ne Afrika okutwalira awamu kye kifo ekisaanidde okussibwamu ensimbi za bizinensi. ‘’Mbadde neewuunya lwaki Abazungu tebajja kussa wano ssente zaabwe kukola bizinensi ng’ate be baali bakama baffe abafuzi b’amatwale.

 Pulezidenti Museveni ng'ayogera.

Pulezidenti Museveni ng'ayogera.

Pulezidenti Museveni ayagala KCCA okukolagana ne kkampuni ya  Sweden ekola bbaasi z'ekika kya Scania basobole okuleeta muno bbaasi ezikozesa ‘amafuta' agava  mu kasasiro akung'aanyizibwa mu Kampala.

Bino yabyogedde asisinkanye ekibinja ky'abayinvesita 15 abaavudde e Sweden abaamusisinkanye mu maka ge e Nakasero. Ekibinja kyakulembeddwa Per Lindgrade.

Bayinvesita kwabaddeko Torben Sjoholm owa kkampuni ya ABB Substations, Henric Thornberg owa Stanbic, Bo Eskesen owa  Mitas Energy, Leandro Motta ey'e QGMI, Logdahl Per-Olof owa SWECO, Russom Kebedon owa Unipower, Magnus Wenna owa Voith, Hans-Olof Rauman, ne  Johann Kennryd ow'e  Staffanstop.

Baagambye nti baagala okussa ssente mu bizinensi ezikwatagana n'ebyentambula wamu n'amasannyalaze. Baagala n'okutandika wano ekkolero erikola bbaasi era kasasiro akung'aanyizibwa mu Kampala bamukolemu amafuta.

Museveni yagambye nti Uganda ne Afrika okutwalira awamu kye kifo ekisaanidde okussibwamu ensimbi za bizinensi. ‘'Mbadde neewuunya lwaki Abazungu tebajja kussa wano ssente zaabwe kukola bizinensi ng'ate be baali bakama baffe abafuzi b'amatwale.

Kati ndi musanyufu nti batandise okulaba ekituufu. Njagala mukolagane ne KCCA mutandike okukola amafuta okuva mu kasasiro w'omu Kampala,'' bwe yagambye.

Ku by'okufukirira ebirime, pulezidenti yagambye nti gavumenti ng'ekolagana n'Abayindi bagenda kukola obuuma obufukirira ebirime nga bweyambisa amasannyalaze g'amaanyi g'enjuba. Kkampuni ya Scania ekolera mu mawanga nga 100 mu Bulaaya, South Amerika  ne Asia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...